Ab'ebyokwerinda beenyodde n'abavubuka mu kulonda e kololo

Poliisi ekubaganye ne ba delegeeti b'ekiwayi ky'abasuubuzi ekya  NRM mu ttabamiruka agenda mu maaso e Kololo oluvannyuma lw'okugezaako okulemesa abavubuka okulonda.

Polisi ng'egezaako okutangira abantu okwekalakaasa
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
Poliisi ekubaganye ne ba delegeeti b'ekiwayi ky'abasuubuzi ekya  NRM mu ttabamiruka agenda mu maaso e Kololo oluvannyuma lw'okugezaako okulemesa abavubuka okulonda.
Poliisi nga yezooba n'abalonzi e Kololo

Poliisi nga yezooba n'abalonzi e Kololo

 
Okulwanagana kuno kuvudde ku kiwayi ky'abasuubuzi bano ababadde ab'okulonda ku Mmande wabula ne mubeeramu ebivvulu nga bagamba nti munnaabwe Hajji Hassan  Basajjabalaba yabadde yabakwekako ba deligeeti ne babanoonya okubakunga nga tebaabalaba era nga batidde nti yabadde amaze okubaza ku ludda lwe wadde kino ba deligeeti bakiwakanyiza nti bo bantu bakulu tebasobola kubagulirira.
 
Akulira okulonda mu kibiina kya  NRM Dr. Tanga Odoi agambye nti ensonga za bano yazitutte wa ssentebe waabwe YK Museveni nga yajja okubawabula ekiddako
Poliisi nga yenyoola n'abavubuka

Poliisi nga yenyoola n'abavubuka

 
Ku ssaawa nga 12: 00 eza kawungeezi ekibinja kya Kya ba deligeeti bano kyalumbye ekisaawe e Kololo ne bagezaako okulemesa okulonda nga bagamba nti kyabadde kimenya mateeka okusooka abavubuka nga bo tebanalonda.
 
Poliisi ekakkanya obujagalalo bwe yalabye balemeddeko nesalawo okubakuba Kibooko ssaako n'e nsaba ggeere okukakkana nga bakutteko n'abantu abamu