Kkooti eragidde ku bya Dr. Ssemugenyi

KKOOTI eragidde envumbo ezassibwa ku akawunti za Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi eyali aweerera abaana abasoba mu 1,000 abatalina mwasirizi ziggyibweko.

Dr. Ssemugenyi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KKOOTI eragidde envumbo ezassibwa ku akawunti za Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi eyali aweerera abaana abasoba mu 1,000 abatalina mwasirizi ziggyibweko. Dr. Ssemugenyi yaggulwako emisango gy’okussa ssente mu bikolwa ebimenya amateeeka
olwo akawunti ze mu bbanka ya DFCU ne zissibwako envumbo.
Yaggulawo omusango ogwasaliddwa ku Lwokutaano, omulamuzi Isaac Muwata n’alagira akawunti ze ezibadde zisibiddwa okumala emyezi 10 ziggyibweko envumbo.
Omulamuzi Muwata yagambye nti oluvannyuma lw’okwetegereza ensonga ezaaweereddwaayo mu musango guno, yazudde nti Ssemugenyi yanyigirizibwa okuggala akawunti ze. Mu mpaaba, Dr. Ssemugenyi yalaga nti kkampuni ya Thorington Capital Markets Ltd eyamwemulugunyaako terina ofiisi mu Saudi
Arabia era tewali biwandiiko weeragira nti yaweereza ssente ku akawunti za Ssemugenyi.