Ggaasi abalukidde mu kisulo ky'abayizi e Kyambogo 5 ne bayisibwa bubi

ABAYIZI ba yunivaasite y’e Kyambogo bataano nga kw'otadde n'omukuumi omu, batuusiddwako ebisago , sirinda ya ggaasi efumba, bw'eyabikidde mu kizimbe mwe babadde.

Ggaasi abalukidde mu kisulo ky'abayizi e Kyambogo 5 ne bayisibwa bubi
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kyambogo #Ggaasi #Baana #Bayizi

ABAYIZI ba yunivaasite y’e Kyambogo bataano nga kw'otadde n'omukuumi omu, batuusiddwako ebisago , sirinda ya ggaasi efumba, bw'eyabikidde mu kizimbe mwe babadde.

Akasattiro kano, kabadde ku Sport Pro Hostel mu bbanda zzooni 9 mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala, sarinda ya ggaasi kwe bafumbira , bw'eyabise n'ebakuba n'okwonoona ebisenge.

Ekizimbe kino ekyemyaliiro esatu, nakyo kyonooneddwa n'endabirwamu z'amadirisa ne zaatika wakati mu kulaajana n'okusattira okuva mu bantu.

Abalumiziddwa, kuliko omukuumi w'ekifo ekyo, ategeerekeseeko erya Frank era atwaliddwa mu ddwaaliro ly'e Nagguru gy'afunira obujjanjabi.

Ate abayizi kuliko, Flavia Chelangat, Florence Akello n'abalala abasatu amannya tegannamanyika , nabo bakoseddwa mu njega eno.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti bonna batwaliddwa mu ddwaaliro e Naggulu okubajanjaba ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.