Ssentebe w'eggombolola y’e Myanzi e Kassanda afudde ate abalala babiri ne bakosebwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende.
Ssentebe Joseph Merry Nsubuga 55, era omusomesa ate nga mutuuze w'e Myanzi e Kassanda, y'afiiridde mu kabenje akagudde okumpi ne Mumsa High School.
Ssentebe abadde avuga pikipiki Bajaaji nnamba UDP 918K bw'agezezzaako okuwetera mu kkubo adde gy’ava mmotoka ekika kya Noah nnamba UA 010 AR kwe kumukoona n'afiirawo.
Emmotoka egudde ne yeefuula emirundi egiwerako era abasomesa ba Good Mammy P/S e Bukuya okuli Rose Nabukalu 25, ne Florence Namigadde abagibaddemu ne balumizibwa bya nsusso.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Racheal Kawala, agambye nti abalumiziddwa batwaliddwa ku ddwaaliro lya Kambo Medical Center okufuna obujjanjabi.