OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituma alabudde abawagizi b'ekibiina Kya NUP abatagoberera mateeka gatereddwawo ekitongole kyeby'okulonda n'amateeka amalala.
Bino abyogeredde mu lukungana lwa banamawulire olutudde ku kitebe Kya poliisi e Naguru. Wayise olunaku lumu nga abesimbyewo batandise okukuyega abawagizzi wabula okusinziira ku butambi poliisi ng'omumulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Sentamu agenda mu bitundu bye Busoga okutongoza kakuyege we bwelaze banamawuliire,.
ACP Rusoke Kituma anokodeyo ebikolwa bingi ebimenya amateeka. Rusoke atandise na kulaga nsobi abawagizi gyebakoze ku kulugo ye Gayaza, Kigyabijjo Nakwero ne bitundu ebirala.
Ku kabenje akagudewo e Nakifuma nga Sentamu agenda e Jinja Rusoke agamba abantu abakosedwa kuliko Kewanza Bashir, Kakaire Bashir, Sempereza Musa, Kisomba Michael
Sewaya Eric ne Mutagobya Robert bakoseswa nyo.
Poliisi erabudde banabyabufuzi okugoberera amateeka gyebyengudo. Agamba nti Poliisi egenda kukozesa amanyi okulaba nga tewadamu kubeerawo bubejje buno.
Agamba nti tebagenda kukiriza abantu kuwerekera kyagulanyi. Agamba nti tebagenda kukiriza kukyusa biffo kuba olwaleero wabadewo okera. Rusoke akubirizza abantu okugoberera amateeka kuba bulikimu bakikoze okumanyisa abantu