POLIISI y’e Lugazi eriko omusajja gw’enoonya ku bigambibwa nti yakutte omwana we gw’azaala n’amusibako essanja n’amukumako omuliro ng’amuteebereza okubba nnusu 1,000/=
Omwana eyayokeddwa mu kiseera kino apooca n’ebisago mu ddwaaliro e Kawolo era nga eno gy’asangiddwa n’ayogera engeri gye yayokeddwa.
Ebisago Ebyamutuusiddwako Mu Ddwaaliro
Christine Nampiima 8, omuyizi mu ssomero lya Madam Gonza Nursery and Primary School alumiriza kitaawe Peter Maseeta omutuuze ku kyalo Nakyessanja mu diviizoni y’e Najjembe mu Lugazi munisipaali mu disitulikiti y’e Buikwe okumusibako essanja n’amukumako omuliro.
Nampiima agambye nti mukakitaawe yamuwadde ssente z’ekibiina azimutwalireyo era n’azitwaala n’aziwa abakyala be yasanzeeyo kyokka omu ku bakyala n’amutuma addeyo ategeeze nnyina nga ssente bwe zaabadde zibulako nnusu 1,000/=
Agambye nti nnyina kino yakiwakanyizza n’amulumiriza nti yaziggyeko kw’ezo 22,000/= ze yabadde amuwadde okutwalayo ye Nampiima kye yeewakana.
Nampiima abadde mu bulumi ng’amagulu galeenya era nga gabambuse olw’omuliro ogumukumiddwaako ayongedde okunnyonnyola nti nnyina bwe yamuloopye ewa kitaawe nga akomyewo naye kwe kugenda mu Lusuku n’asala essanja ly’aleese n’amukumukako omuliro n’engoye ne zigya kwe kudduka n’agenda ku muliraano ng’ali mu bulumi buyitirivu.
Annet Kyomuhendo gwe twasanze mu ddwaaliro ng’alabirira Nampiima era nga muliraanwa waabwe yagambye nti omwana yazze adduka ng’akuba enduulu n’ababuulira ebimutuseeko nga bw’awogganira waggulu.
Agambye nti bwe baamulabye ng’ali bubi kwe kumutwala ku poliisi e Kitigoma gye baamuggye okumutwala mu ddwaaliro e Kawolo kati gy’afunira obujjanjabi.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto akakasizza byonna ebyabaddewo era n’avumirira taata okwokya omwaana we saako abazadde abatuusa ebikolwa eby’obukambwe ku baana.
Asabye abantu okuyambako poliisi okukwata omusajja oyo avunaanibwe mu mbuga z’amateeka. Alina obuyambi bwonna basabye okubuweereza ku 0707960908 ereeta mannya ga Penina Wamulanga.