Atanategeerekeka abuuse ku lyato ne yeekasuka mu nnyanja. Poliisi e Kalangala etandise okunoonyereza ku musajja abuuse mu lyato mwe babadde basaabalira ne yeesuula mu nnyanja era n'afa.
Entiisa eno ebadde mu lyato erikedde okuva e Lujjabwa mu ggombolola y’e Mazinga e Kalangala nga lidda e Lambu mu Masaka.
Eryato kwe babadde.
Kitegeerekese nti ono abadde atembeeya bunzaali n’amajaani ag’omu bukebe kyokka ennaku nnya z’amaze mu mwalo guno abadde tamanyiddwako wadde ebimukwatako.
“Bwe twasimbudde, yalabise nga atali mu mbeera nnungi era tukyamyeko e Kyagalanyi ku kizinga Buggala ne tuggyamu omusaabaze wabula tubadde twakasimbula ebbanga si ddene n’atugamba nti mweraba awo w’abuukidde mu lyato ne yeesuula mu nnyanja,” Peter Matovu nannyini kinaala bw’agambye.
Ayongerako nti wadde baagezezzaakko okuyimiriza eryaato bamuyambe kyokka bw’asse ogw’okusatu takomyewo.
Denis Ssebugwaawo omu ku batuuze agamba nti abakulembeze beesuliddeyo nnyo ogwannagamba naddala mu kulondoola abantu abapya ababa bazze mu bizinga kyokka bwe bafuna obuzibu ne kibatawaanya okuzuula ab’enganda zaabwe.
Omwogezi wa Poliisi mu bendobendo ly’e Masaka, Twaha Kasirye akakasizza ekikangabwa kino bw’atyo n’asaba abantu obutasaanyaawo bulamu bwabwe newankubadde nga bafunye ebizibu mu mirimu gyabwe.
Poliisi ng’eri wamu n’abakulembeze babakanye n’omulimu gw’okunoonya omulambo kyokka ensawo gy’alese emabega temuli wadde ekiwandiiko kyonna ekimukwatako wazira essimu gye yeesuddemu nayo mu mazzi.