Poliisi y’e Mukono ekutte n’eggalira omuyizi agambibwa okuwamba abaana ba mwannyina babiri n’amukanda ssente okubamuddiza.
Akwatiddwa ye Robert Waiswa omuyizi mu siniya ey’okubiri ku ssomero lya Panorama College ng’ono kigambibwa nti yawambye abaana ba mwannyina okuli ow’emyaka 2 ne 4.
Nnyaabwe Marvis Iriko omutuuze ku kyalo Kigunga mu munisipaali y’e Mukono annyonnyodde nti ku Lwokutaano ku ssaawa nga kkumi na bbiri ez’akawungeezi, yabadde awumuddemu kyokka bwe yazuukuse n’anoonya abaana nga tabalaba.
“Nabadde mbalese mu luggya nga bazannya ne bannaabwe abalala ab’okumuliraano ne neebakamu kati bwe nazuukuse okwagala okubanaaza, nabanoonyezza nga sibalaba.”Iriko bwe yagambye.
Yategeezezza nti ku Lwomukaaga yafunye essimu emukubirwa gy’ataategedde ng’emusaba ssente. “eyali ku ssimu yasaba ssente nga tampadde muwendo gw’ezo zaayagala era n’ampa n’ennamba y’essimu y’okuzissaako.
Waayise eddaakiika nga ssatu n’addamu okunkubira ng’ankakasa ng’abaana bange bw’abalina era n’angamba muteereko ensimbi ezigya mu muwendo gw’abaana bange olwo ne mpunga kubanga ssaabadde na ssente yadde.
Yangambye nti nsooke muteereko emitwalo 3 ez’okubaliisa.”Iriko bw’annyonnyodde. Ategeezezza nga poliisi bw’ekozesezza obukugu bwonna okulondoola essimu eno n’ezuulwa nga yabadde ya Waiswa mwannyina era ng’abaana abadde abakuumidde mu muzigo ku kyalo ky’e Nabuti.
Baggyiddwaayo poliisi ne baddizibwa nyaabwe ne Waiswa n’akwatibwa era ng’akuumirwa ku poliisi y’e Mukono ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso.
Oluvannyuma lw’okukwatibwa, poliisi yakunyizza Waiswa okuginnyonnyola ekyabadde ekigendererwa kye n’ategeeza nga bwe yabadde anoonya ssente okubaako bye yeegulira. “Ssaabadde na kigendererwa kya kutuusa bulabe ku baana wabula nabadde noonya ssente okubaako bye nneegulira nange”.
Abaana bwe bandabye nga ngenze ewa mwanyinaze bansanyukidde ne baddukira gyendi ne nfuna ekirowoozo eky’okubawamba nsabe ssente. Mbadde nteekateeka okubazzaayo ewaabwe kubanga eky’okubaliisa mbadde ssikirina.” Waiswa bwe yagambye.