Amawulire

Abadde ava mu bbaala bamunyodde obulago ne bamutta mu bukambwe!

ABATUUZE  ku kyalo Kampoomera mu muluka gw'e Ttumbaali mu ggombolola y'e Masuulita mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekikangabwa bwe bakedde okusanga mutuuze munnaabwe nga attiddwa mu bukambwe obw’ekitalo nga bamusse.

Abadde ava mu bbaala bamunyodde obulago ne bamutta mu bukambwe!
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

ABATUUZE  ku kyalo Kampoomera mu muluka gw'e Ttumbaali mu ggombolola y'e Masuulita mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekikangabwa bwe bakedde okusanga mutuuze munnaabwe nga attiddwa mu bukambwe obw’ekitalo nga bamusse.

Bamufumisefumise ebiso ebyamuttiddewo era yasangiddwa mu kitaba ky'omusaayi. Attiddwa ye Ramathan Kasaada 40 nga kiteeberezebwa nti okuttibwa yabadde ava mu bbaala.

Engeri gy’abadde alabikamu kiraga nti abaamusse baasoose kumunyoola nsingo n’oluvannyuma ne bamufumita ebiso.

Abatuuze abaakulembeddwa Ronald Kasibante be baasanze omulambo bwe baabadde bagenda okukola ne bayita abakulembeze b’ekitundu kino nabo abazze ne bayita poliisi y’e Masuulita eyeegatiddwako ey’e kakiri ne bajja okulaba ogubadde.

Ssentebe w'ekyalo kino, Sserwanga Yobu awanjagidde omuduumizi wa poliisi ya Uganda, Abas Byakabaga okulaba nga bongera ku baserikale ku poliisi y’e Masuulita kuba ekitundu kino ettemu lisusse nnyo nga n'abavubuuka abatalina byakukola nabo beeyongedde nnyo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti poliisi etandise okunoonyereza abasse omusajja ono kyokka n’asaba abatuuze abalina amawulire okugenda ku poliisi okukola sitatimenti kw’abo be bateebereza okutta munnaabwe.

Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago abasawo bagende mu maaso n'okugwekebejja.

Tags:
Amawulire
Bbaala
Bukambwe
Kutta
Bulago