Amawulire

Abadde yeeyita omusirikale wa Poliisi n'afera abantu akwatiddwa

Poliisi ekutte Elangu Erida Pius abadde yeeyita omusirikale addumira Poliisi ya Jinja Road SP Opio Patrick abadde aggya ku bantu sente.

Elangu Erida Pius ng'ali mu kaguli ka poliisi
By: Sulaiman Mutebi, Journalists @New Vision

Poliisi ekutte Elangu Erida Pius abadde yeeyita omusirikale addumira Poliisi ya Jinja Road SP Opio Patrick abadde aggya ku bantu sente.

Kigambibwa nti ono abadde akozesa ennamba z'amasimu ez'enjawulo n'asaba okusisinkana abakulu b'ebitongole eby'enjawulo n'abasaba sente nga akozesa esimu namba 0762834001 ne 0702599905.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n'emirwano asabye abantu abaferebwa omuntu ono okugenda ku Poliisi ya Jinja road baggulewo emisango. Ayongedde n'akubirizza abantu okubeera abegenderezza ku bantu ababasaba sente

Tags: