Poliisi ekutte eyalonze ssente obukadde 15 n’azeezibika

POLIISI erondodde n’ekwata omukazi eyalonze ssente obukadde 15 n’azeezibikaoluvannyuma lwa nnyinizo okumugwako bwe yabadde ayita ku kizimbe kya Grand Corner House mu Kampala

Tumuhairwe
NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI erondodde n’ekwata omukazi eyalonze ssente obukadde 15 n’azeezibika
oluvannyuma lwa nnyinizo okumugwako bwe yabadde ayita ku kizimbe kya Grand Corner House mu Kampala.
Sharon Tukahirwa nga yoomu ku bateega bakazitoma okusobola okubatwala okusiba enviiri abaakazibwako erya ‘Sister Saloon’ ye yakwatiddwa poliisi oluvannyuma
lw’okumulondoola okuva nga January 14, 2025 bwe yalonda ssente 15,
108,500/- ezaagwa ku Alvin Victor eyali ayita ku kizimbe kya Grand
Corner House ekiriraanye ekya Gazaland n’abulawo nazo wabula abaamulabye ne bamuloopa ku poliisi. Akulira poliisi ya Mini Price, Joseph Muliika yagambye nti Victor
ssente yali azitadde mu nsawo y’empale nga bwe yali aggyayo  essimu ne zivaamu ne
zigwa Tumuhirwa n’azironda
n’ayingira ekizimbe teyataddamu kulabika. Yagambye nti Victor yeekubidde
enduulu ku poliisi ya Mini Price n’aggulawo omusango ne batandika okunoonya
Tumuhirwa wabula nga talabikako ne balondoola n’amasimu ge wabula nga yagaggyeeko ne layini n’azisuula n’afuna empya.
Yategeezezza nti okunoonyereza kwagenze mu maaso abaserikale ne bamukwatira e Namuwongo gy’asula ne bamusanga ne ddoola 2200 ku ddoola 4100 ze yalonze ne bamukomyawo ku poliisi ya Mini Price. Kyazuuliddwa nga ku ssente yaweerezzaako mu kyalo bamugulireko ente. Tumuhirwa yatwaliddwa ku poliisi ya CPS ku musango oguli ku fayiro SD 30/14/01/2025.

Login to begin your journey to our premium content