POLIISI ekutte abavubuka 10 ku bigambibwa nti be bali emabega w’obulumbaganyi obw’okumukumu obuzze bukolebwa ku masomero nga babba ebintu eby’enjawulo n’okulumya be baba balumbye.
We babakwatidde ng’obulumbaganyi bwa mirundi 10 bwe bubadde bwakakolebwa ku masomero ag’enjawulo okuli; Seminaaliyo y’e Nswanjere gye baalumbye mu kiro ekyakeesezza Mmande ne batema Fr. Emmanuel Mukukule ne Bro. John Bosco Mwasa abakyajjanjabibwa.
Poliisi erondoola essimu ezabbiddwa okuli eya: Fr. Godfrey Kyeyune, Fr. Emmanuel Mukukule, Fr. John Bosco Kiggundu ne Br. John Bosco Mwasa. Kuno bagasseeko okwekenneenya ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera n’akasawo ke baazudde akalimu ebinusu bya 4,000/-, ke bagenda kuggyako ebinkumu.
Obulumbaganyi buno bwonna, abakuumi b’amasomero basatu battiddwa n’abalala bangi ne basigala n’ebisago eby’amaanyi.
Ensonda mu byokwerinda zaategeezezza Bukedde nti abakwate bali mu buduukulu bwa poliisi obw’enjawulo gye babasoyeza kajjogijjogi w’ebibuuzo nga bangi ku bo baabasanze n’ebijambiya ssaako embazzi ze babadde bakozesa okulumba amasomero.
Bukedde yakitegeddeko nti ababadde balumba amasomero bano babadde bakolagana n’abantu abali munda mu masomero naddala abalina akakwate ku byensimbi, era ba bbaasa babiri ab’agamu ku masomero agaalumbiddwa nabo poliisi yabakutte bannyonnyole ku nkolagana yaabwe n’abantu bano.
OBULUMBAGANYI OBUKOLEDDWA
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti mu kiro ekyakeesezza Mmande ya wiiki ewedde, abatemu baalumba essomero lya Kasawo Secondary School, ne babba ebintu omwali ssente obukadde 63, kompyuta n’ebintu ebirala okuva mu ofiisi etuulamu ba bbaasa babiri ne balumya abakuumi bana (2).
Abakuumi abalala babiri badduka n’okutuusa kati bakyabanoonya nga poliisi yakutte ne ba bbaasa b’essomero eryo bombi bayambeko mu kunoonyereza.
Abalumbaganyi bano abakozesa obukodyo obufaanagana, baalumbye n’amasomero okuli Katika SDA mu Gayaza e Makenke, Busukuma College School mu munisipaali y’e Nansana, Cambridge School of St Mbaga Gayaza n’amalala. Abeebyokwerinda bagamba nti abakambwe bano kati baakyusa enkola ey’okwetuuma amannya agamanyiddwa beetuuma ly’oyo aba akulira ekibinja.
Mu ngeri yeemu poliisi efunye akatambi akalaga omubbi eyayingiridde ekkanisa y’abalokole ne babbamu ebintu ebibalirirwamu obukadde 20. Owoyesigyire yagambye nti ababbi baamenye ne bayingirira ekkanisa ya Living Word Assembly Church e Nakasero ku Lumumba Avenue nga March 6, 2023 ne babbamu ebintu omuli laptop, kompyuta, ttivvi n’ebirala.
OKWEGAYIRIRA MU KLEZIA KU BAALUMBYE
Ababbi bwe baalumbye e Nswanjere baamenye tabenankulu n’okwonoona ositiiya erabirwamu obubiri gwa Yezu Kristu. Ssaabasumba w’essaza lya Kampala, Paul Ssemogerere yalangiridde okwegayirira okumala ennaku ssatu, basabire abaakikoze bakyuke.
Eggulo ku Lutikko e Lubaga, okwegayirira kw’okuddaabiriza n’okwenenyeza Yezu kwakulembeddwa omumyuka Bwanamukulu Fr. Alex Kambagira nga kwatandise n’okusinza essakalamentu lya Ucharistia wakati mu kwenenya n’okuddaabiriza omutima gwa Yezu.
Fr. Kambagira yavumiride ekikolwa ky’abazigu bano eky’okuvvoola essakalamentu lya Ucharistia n’okukola obulumbaganyi ku bafaaza n’abawa amagezi okuvaayo beenenye. Ekikolwa kino kyalaze empisa embi ezifumbekedde mu bantu n’asaba buli omu okwegayirira n’okuddaabiriza omutima gwa Yezu era n’okudda eri Kristu.
Ssaabakristu w’Essaza ekkulu erya Kampala, Aloysius Ivan Kalanzi ku lw’Abakristu naye yavumiridde obulumbaganyi buno n’awa abaakoze ekikolwa kino amagezi okwenenya Omukama asobole okubasonyiwa kubanga babadde tebamanyi kye bakola.
Yabawadde eky’okulabirako ekya Saulo eyayigganya ennyo Yezu kyokka oluvannyuma n’afuuka Paul omutume. Omwogezi w’Essaza ekkulu erya Kampala, Fr. Joseph Mukiibi yategeezezza nti Fr. Emmanuel Mukukule, omu ku baatemeddwa omutwe akyali ku kitanda mu ddwaaliro e Lubaga n’asaba Abakristu okwongera okumusabira. Abalala baasiibuddwa