Poliisi ekutte 30 ku by'okutema mmotoka empya ttuku mu ggalagi y'e Nateete

Mmotoka egambibwa okubbibwa esangiddwawo nga bagitemyetemye nga buli kimu kiri waakyo

Poliisi ekutte 30 ku by'okutema mmotoka empya ttuku mu ggalagi y'e Nateete
By Martin Kizza
Journalists @New Vision
#Mmotoka #Ggalagi #Mpya #Nateete #Kuyoola #Bavubuka

Poliisi y’e Nateete ng’eduumirwa DPC Hassan Sekalema ng’ali wamu n’ekitongole kya Crime Intelligence basazeeko ggalagi mu Church zzooni e Nateete we babade batemera mmotoka ekika kya Fuso empya ttuku.

Kigambibwa nti waliwo mukwano gwa nnannyini mmotoka gye baludde nga banoonya eyayise mu kitundu kino n’asanga nga waliwo mmotoka gye batemaatema n’addukira ku poliisi n’agitemyako.

Nnamba puleeti ezaasing'aaniddwa wansi w'emmotoka

Nnamba puleeti ezaasing'aaniddwa wansi w'emmotoka

DPC w’e Nateete naye teyalonzezza, yasitukiddemu n’atuuka ku garagi eno ng’ali wamu ‘abaserikale ba flying squard ne bakwata abantu abaabadde mu 30.

Mmotoka egambibwa okubbibwa esangiddwawo nga bagitemyetemye nga buli kimu kiri waakyo kyokka bwe babuuzizza bannannyini ggaragi, baabategeezezza nti waliwo abaagireeta ne bagipaakinga mu kifo kino era nti babaddenga bajja ne bagisumulula mpolampola ne bagenda.

Bino poliisi tebiwulirizza era bonna ebakutte nga okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Emmotoka nayo etwaliddwa nga kati ekuumirwa ku poliisi y’e Nateete ng abwe banoonya ababbi abaagibba ne bannannyini yo.

Poliisi ekebedde mmotoka eno munda n’esangamu nnamba puleeti UBN 533 C nga yakwekebwa wansi w’emitto n’egenda nayo.

Mmotoka eyakwatiddwa.

Mmotoka eyakwatiddwa.

Ssentebe w’ekitundu kino, ssaalongo Sammy Ssebagala ategeezezza nti naye alabide awo nga DPC Sekalema amukubira okumutegeeza nti mu kitundu kye waliwo obubbi bw’emmotoka.

Asabye bannannyini garage okulaba nga bafaayo okwetegereza bannannyini mmotoka ababaleetera emmotoka zino empya okuzitemaatema ate bakakase nti balina kkaadi zaazo. Yeewuunyizza okulaba mmotoka empya ttuku nga bagitemaatema.