Amawulire

Kyagulanyi leero ali Kawempe

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu olwaleero lw'ayingira ekibuga Kampala okusaggula obululu ng'atandikidde mu Munisipaali y'e Kawempe.

Kyagulanyi leero ali Kawempe
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu olwaleero lw'ayingira ekibuga Kampala okusaggula obululu ng'atandikidde mu Munisipaali y'e Kawempe.

Abawagizi ba NUP mu Kawempe baasuze mu keetereekerero okwaniriza omukulembeze waabwe asuubirwa okukuba enkung'aana bbiri gaggadde mu Kawempe North ekiikirirwa Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola ne Kawempe South ewesimbye mukulu wa Bobi Nyanzi Sentamu amanyiddwa nga Chayimaani Nyanzi.

Bobi bwe yabadde e Moyo ng'anoonya akalulu

Bobi bwe yabadde e Moyo ng'anoonya akalulu

Enkung'aana za Kyagulanyi zombi mu Kawempe zisuubirwa okubeerako n'obugombe olw'okuba ekitundu kino kimayiddwa nnyo mu kuwagira Kyagulanyi era leero asuubirwa okutalaaga konsituwensi ye Kawempe North erimu Erias Luyimbazi Nalukoola ne Kawempe South ekiikirirwa Hajji Bashiri Kazibwe.

Akulira eby'obulamu mu kibiina kya NUP, Dr. Shamim Nambassa ng'avuganya ku bwa loodi kkansala omukazi mu Kawempe South yategeezezza nti enteekateeka zonna zaawedde okwaniriza omwagalwa waabwe.

Yagambye nti Kyagulanyi agenda kukuba enkung'ana ggaggadde mu konsituwensi zombi nga mu Kawempe North waakubeera mu kisaawe e Kanyanya ate Kawempe South Bwaise Growers.

Wiiki ewedde Kyagulanyi agimazeeko ng'atalaaga disitulikiti ez'enjawulo mu West Nile okuli Pakwach, Madi-Okollo, Arua, Marach, Terego, Yumbe, Koboko, Moyo ne Obongi gye yawunzikidde ku Lwokutaano.

E Koboko olukungana yalukubye ku kisaawe kya Boma mu munisipaali ye Koboko, e Yumbe ku kisaawe kye Ujuvu ate e Moyo yalukubye ku Moyo Boarding Primary School. 

Kyagulanyi yasinzidde eno n'avumirira obukambwe obukozesebwa ab'ebyokwerinda ku bantu abagambibwa okukusa ebyamaguzi ne batuuka n'okubakuba amasasi.

Yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng'ababbi ababba ssente y'omuwi w'omusolo bbo tebabakwatako n'agamba nti tewali muntu asaanye kufiirwa bulamu mu ngeri eno nga tulina ekkooti n'amateeka.

Yeeyamye okukola ku bintu ebiyambira awamu abantu bonna okuli enguudo, amalwaliro, amasomero, okutondawo emirimu n'okutumbula eby'ensubulagana wakati w'amawanga agatuliraanye mu kifo ky'okuwakula entalo.

Tags:
Amawulire
Robert Kyagulanyi Ssentamu