Poliisi e Kawanda ekutte abadde agufudde omuze okubba mmita z'amazzi

POLIISI ye Kawanda ekutte omuvubuka abadde agufudde omuze ogw'okubba mmita za mazzi mu mayumba g'abantu n'agenda n'azitunda mu scrup.

Agambibwa okubba mmita z'amazzi ng'ali ku Poliisi
NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI ye Kawanda ekutte omuvubuka abadde agufudde omuze ogw'okubba mmita za mazzi mu mayumba g'abantu n'agenda n'azitunda mu scrup.

Akwatiddwa ye Musa Asingwire 19 nga mutuuze ku kyalo Kawanda Kirinyabigo nga Ono okumukwata abadde abye mmita z'amazzi.

Poliisi bwemukutte egenze okwaza gyasula nga eno basanzeeyo mmita 8 zabbye kyokka olumubuuzizza gyazitwala agambye kimu nti abadde azitunda mu scrup nga kilo ya 2000.
 
Kino abatuuze olukitegedde bagenze ku poliisi okulaba omuvubuuka abadde ababba mmita z'amazzi ne bagamba nti ebbanga ddene nga babba mmita nga bagenda okukeera ku makya nga amazzi gayiika nga mmita zitwaliddwa.
 
Bano basabye Gavumenti abantu bano ebavunaanire ddala kuba bafirizza nnyo Gavumenti ensimbi nnyingi ate nga nabo mmita bazigula ssente nyingi.
 
 

Login to begin your journey to our premium content