Palamenti esiimye omugenzi Joyce Mpanga olw'okulwanyisa enguzi n’okulwanirira eddembe ly’abakyala

PALAMENTI ekungubadde eyaliko minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako  Owek. Joyce Mpanga era ne bamusiima olw’okulwanyisa enguzi n’okulwanirira eddembe ly’abakyala.

Palamenti esiimye omugenzi Joyce Mpanga olw'okulwanyisa enguzi n’okulwanirira eddembe ly’abakyala
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Joyce Mpanga #Palamenti

PALAMENTI ekungubadde eyaliko minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako  Owek. Joyce Mpanga era ne bamusiima olw’okulwanyisa enguzi n’okulwanirira eddembe ly’abakyala.

Owek. Joyce Mpanga yava mu bulamu bw’ensi ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde era Pulezidenti Museveni n'alagira ono aziikibwe mu bitiibwa by’abakungu.

Mu lutuula luno olw’enjawulo olukubiriziddwa amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, ayogedde ku mugenzi nga eyalwana okulaba nga omwana omuwala naye afiibwako okukira abaana abalenzi mu by’enjigiriza wakati nga abantu balimu endowooza nti omwana omuwala tateekeddwa kugenda ku ssomero okuggyako okukola emirimu gy'awaka waalina okuva afumbirwe.

Amyuka Sipiika Wa Palamenti Thomas Tayebwa Nga Akubiriza Olutuula Olw'enjawulo

Amyuka Sipiika Wa Palamenti Thomas Tayebwa Nga Akubiriza Olutuula Olw'enjawulo

Ekiteeso ky’okusiima omugenzi Mpanga kireeteddwa amyuka Katikkiro wa Uganda ow’okusatu Hajjati Rukia Nakadama ng'ono amwogeddeko nga munnabyanjigriza, omulwanirizi w’eddembe ly’abakyala, munnabyabufuzi omugundiivu, era nga yalwana okulaba nga wabaawo omwenkanonkano n’okusoosoowaza omwana ow’obuwala kwossa n’abakyala nga kino kyawaliriza abakyala bangi okwnyigira mu by’obufuzi.

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga alaze okunyolwa nti ensonga ezaviirako omugenzi  Mpanga okuwanganguka mu myaka gya 1967, gavumenti ya Obote bwe yawamba Olubiri lwa Kabaka Edward Muteesa, ze zimu ezikyanyigiriza Bannayuganda omuli ekiwamba bantu n’ebirala.

Ababaka nga Bayimuse Okwaniriza Omubiri Gw'omugenzi Mpanga

Ababaka nga Bayimuse Okwaniriza Omubiri Gw'omugenzi Mpanga

Wabula mu kusiima emirimu gya Mpanga mu Palamenti,  Mpuuga yagambye nti ebyaliwo mu myaka gye 60 bwe biba bikyaliwo kitegeeza nti abantu bangi bakyawanganguka.

Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu, John Chrysostom Muyingo agambye nti ababaka abaliwo mu biseera Mpanga bwe yali mu palamenti baali tebakozesa lulimi luvuma mu palamenti.

Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda (Kiira Munisipaali) agambye nti omugenzi yalina obukugu obwetaagisa mu buli ofiisi gye yateekebwamu n'olwekyo abakulembeze b’omulembe guno basaanye okumuyigirako.