Bya Dickson Kulumba
KABAKA Mutebi II yeebazizza omugenzi Joyce Mpanga olw’okumubeererawo wamu n’abooluganda lwe mu kiseera Ssekabaka Muteesa II ng’akisizza omukono e Bungereza gye yali mu buwang’anguse.
Bino bibadde mu kusaba okwategekeddwa mu Lutikko e Namirembe eggulo nga kwakulembeddwa Ssaabalabirizi Dr. Kazimba Mugalu.
“Nzijjukira bulungi mu biseera eby’akazigizi mu kiseera ekyo nga nnina emyaka 14 so nga ne baganda bange nabo baali bakyali mu myaka mito. Ye n’omwami we Fred Mpanga baakola kinene okulaba nga tetutuusibwako bulabe.”
“..Mu budde obwo obwakazigizigi, baakola ebintu ebikulu bisatu okuli; Okutereka n’okukweka butiribiri enjole ya Ssekabaka Muteesa II okulaba ng’abalabe be tebagituukako. Ate baakola kinene okulaba nga nkola emikolo gy’okubikka akabugo, okukakasa nti omuliro ogwali guzikidde nga guddamu okwaka.
Gavumenti ya Obote bwe yaggyibwako, yeetaba mu nteeseganya ne gavumenti ya Amin okulaba ng’enjole ya Ssekabaka Muteesa II ekomezebwawo era n’eterekebwa mu kitiibwa,” Kabaka bwe yagasseeko mu bubaka obwamusomeddwa Nnaalinya Sarah Kagere.
Ku lulwe, Kagere yajjukidde omukwano omugenzi gwe yabalaga nga kitaabwe Ssekabaka Muteesa II akisizza omukono n’engeri gye yamuteekateekamu okugumira embeera ey’okukungubaga kuba yali tagendangako mu lumbe, wadde okulaba ku mufu!
Gavumenti eya wakati yakikkiriddwa Minisita omubeezi ow’empuliziganya, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo nga yategeezezza nga gavumenti bwe yasazeewo okutwala eby’okuziika era waakukubirwa emizinga esatu.
Kabineeti ya Kabaka yakiikkiriddwa Katikkiro wa Buganda Waggwa Nsibirwa.
Nnaabagereka Nagginda yeebazizza omugenzi ng’eyamuwa amaanyi. okuwandiika ekitabo kye yafulumya mu March 2023 oluvannyuma lwa Mpanga okuwandiika ekikye mu 2019 era n’asaba Nnabagereka akiwandiikire ennyanjula.
KATIKKIRO E LUNGUJJA
Katikkiro Charles Peter Mayiga nga mu kiseera kino ali mu luwummula yagenze mu maka g’omugenzi e Lungujja okubasaasira nga yabadde ne mukyala we, Margaret Mayiga.
Yategeezezza nti obulamu bwa Mpanga buwadde ebyokulabirako bingi eri abantu okuli abazadde okuwa omukisa abaana baabwe kyenkanyi awatali kwawulamu mulenzi oba muwala ate era ne bulaga nti abafumbo bombi mu maka basaanye okuwagiragana. Joyce Mpanga aziikibwa leero ku biggya bya bajjajjabe e Maya - Busiro