Bya Edith Namayanja
ABABAKA ba palamenti bali mu kiyongobero oluvannyuma lw’amawulire g'okufa kw'omubaka munnaabwe Cecilia Babara Ogwal okubabuutikira enkya ya leero.
Omugenzi Cecilia Ogwal
Ogwal afiiridde ku gy’obukulu 77 era nga y'abadde omubaka omukyala ow’e Dokolo okuviira ddala mu mwaka 1996 nga y’omu ku babaka abakyasize okumala mu palamenti ebbanga eddene.
Sipiika wa palamenti Anita Among asoose kubikira babaka ku mukutu gwe ogwa X, era oluvannyuma agenze mu maka g’omugenzi e Bugolobi okubuuza ku bakungubazi.
Omu Ku Booluganda Lw'omugenzi Mu Maka Gaabwe E Bugoloobi
Sipiika ayogedde ku Ogwal ng' omuntu eyamusikiriza okuyingira ebyobufuzi kubanga yamulabirako nga mukyala munne era ng' amuwabudde buli bwabadde amutuukirira.
Omubaka wa Mawokota South, Yusuf Nsibambi agambye nti nga FDC bafiiriddwa emu ku mpagi mu kibiina abadde yeebuuzibwako ku buli nsonga era ng' abadde munyikivu mu mirimu gye nga n’emirimu egisembyeyo mu palamenti abaddemu.
Amyuka ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi agambye nti yadde ng'omugenzi abadde ku ludda oluvuganya, abadde muwabuzi nnyo era nga buli omu amuwuliriramu bw'asituka okwogera nga n’emirundi mingi abadde awakanya pulezidenti Museveni ku nsonga zaabeera tamatidde nga pulezidenti amuyita mwannyina.
Ono Abadde Asaba.
Bano Babaka Ba Palamenti Okuli Abdu Katuntu Abagenze Ne Sipiika Okubuuza Ku Bafiiriddwa
Omubaka wa Kiboga East Keefa Kiwanuka agambye nti omugenzi aludde mu palamenti era nga yaliko naye ku kakiiko akatunuulira embalirira ng' endowooza ze n’ebirowoozo bye bibadde bya nkizo nnyo era awulirirwamu.
Omubaka omukyala owa Abim - Janat Okori Moe agambye nti ng' ababaka abakyala , Ogwal bamuyigiddeko bingi nnyo mu byobufuzi kubanga baamusanga mu palamenti era nga bamwebuuzizaako ku nsonga nnyingi nga bbo era nga bamuyigiddeko bingi ebibayambye okuzimba ebyobufuzi byabwe.
Omubaka Wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Ne Sipiika Bwe Babadde Bakukungubaga E Bugoloobi
Omubaka w’e Baale - Charles Tebandeke agambye nti ajjukirwa mu kufa kw’owekitiibwa Joyce Mpanga , Ogwal yayogeza obumanyirivu bungi nnyo nga kibi nnyo nti mu kadde kano ate gwebazeeko okukungubagira ate ng'abadde mukyala ayimirira ku kyamanyi nti kituufu n'akiremerako.