Kabaka atenderezza emirimu gya Joyce Mpanga

PULEZIDENTI wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atenderezza omugenzi Joyce Rovincer Ndwaddewazibwa Mpanga olw'okulafubanira emirembe n'enfuga ya dimokulaasiya okudda mu Uganda.

Omugenzi Joyce Mpanga
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

PULEZIDENTI wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atenderezza omugenzi Joyce Rovincer Ndwaddewazibwa Mpanga olw'okulafubanira emirembe n'enfuga ya dimokulaasiya okudda mu Uganda.

Museveni yagambye nti yasooka okulaba omugenzi ono mu mwaka gwa 1980 era beetaba wamu naye mu nkiiko nnyingi ezakakkana nga zikkanyiza bagende mu nsiko okuggyako Obote.

Obubaka buno yabuyisizza mu Mumyuka ow'okusatu owa Katikkiro wa Uganda, Rukia Nakadama mu kuziika omugenzi ku lwokuna November 23,2023 e Busembe Maya-Wakiso mu Busiro nga wano wewali obutaka bw'essiga lya Masembe mu Kika ky'enseneene omugenzi mwabadde ava n'ategeeza nti bwebamaliriza okuwangula olutalo n'amulonda okubeera Minisita w'ensonga z'Abakyala era n'amwebaza okulafubana kweyakola okutumbula abakyala.

Kabaka wa Buganda ng'obubaka bwe busomeddwa Nnaalinya Sarah Kagere yalaze okunyolwa olw'okufa kwa Mukadde we Ono era n'amwebaza okubeera omu ku ntabiro y'okuzzaawo Obwakabaka mu 1993 era n'ategeeza nti okumala emyaka 30 ng'Obwakabaka buzzeewo, atambudde naye mu mbeera yonna.

Obubaka bwa Kabaka

Obubaka bwa Kabaka

Omugenzi yalaama okuziikibwa e Maya wadde yali yagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne bba Mpanga eyaziikibwa e Masooli-Nangabo mu Kyadondo.

Ate obubaka bwa Kabineeti ya Kabaka bwatuusiddwa Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa ng'ono yategezezza nti Obwakabaka bufiiriddwa nnyo omuntu omwagazi waabwo,omuwereeza ateebalira nga yasemba okutuula mu lukiiko lwa Buganda nga September 25,2023 ate era eyakuza obulungi abaana,abawereeza Kabaka waabwe n'omutima gumu.

Waasoosewo okusaba okwakulembeddwamu Omulabirizi Omubeezi owa Kampala,Bp Hannington Mutebi ng'ono yayogedde ku mugenzi ng'akoleredde ennyo okusitula Famire ye ate n'okuwereeza Katonda mu bifo byonna byayiseewo bwatyo n'asaba buli muntu amuyigireko kubanga okuwereeza Katonda tekuli eri Bannaddiini bokka wabula kwa buli muntu omutonde.

Mpanga abadde mukiise mu Lukiiko lwa Buganda okuva mu 2009 ate bba omugenzi Andrew Fredrick Mpanga yali Ssabawolereza wa Buganda eyasembayo ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II, yali munnabyabufuzi nga yakikkirirako ekitundu ky'e Mubende mu Palamenti, yayamba okutandikawo ebibiina ebisitula embeera z'abakyala bingi okuli Uweso.

Eyaliko Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, Dr. Specioza Wandera Kazibwe yayogedde ku mugenzi ng'omuntu eyamubangula mu by'obufuzi n'okulwanirira eddembe ly'obuntu ate era mu kubatendeka n'abasaba okusigala nga benyumiriza mu kubeera abakyala Afirika kyokka Dr. Kazibwe yasinzidde wano neyewunya abakyala abeefumba okukyusa endabika yaabwe balabike ng'abazungu!

Ye Pulezidenti w'ekibiina Kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu asinzidde wano n'akubirizza bonna abawereeza mu ofiisi za gavumenti okufuba okuwereeza bawummule nga tebalina bbala lyonna nga Mpanga bwabadde era neyekkokkola ebikolwa eby'okuwamba abantu mu Uganda nga wadde Mpanga yali omu kwaabo ababirwanyisa mu myaka gye 60,70 ne 1980, naye alese bizzeemu.

Okuziika Joyce Mpanga

Okuziika Joyce Mpanga

Ku lw'abaana b'omugenzi, Minisita wa Kabaka ow'ettaka David Mpanga yebazizza Kabaka olw'okubeera obumu ne Maama waabwe ate neyebaza Pulezidenti Museveni olw'okukkiriza Omugenzi n'aweebwa okuziika okw'ekikungu okuva mu gavumenti.

Omukolo gwetabiddwako abantu bangi okuli Bannalinya Dorothy Nassolo ne Lubuga Agnes Nabaloga, Baminisita ba Kabaka,Katikkiro wa Uganda eyawummula Kintu Musoke, Abalabirizi Kityo Luwalira owe Namirembe ne Bp James Bukomeko owe Mityana. Bannabyabufuzi abalala kuliko Dr Kizza Besigye, Ababaka Muwanga Kivumbi, Ssemujju Nganda, ne Francis Zaake n'abalala bangi.

Omugenzi eyazaalibwa nga January 22,1933 n’afa nga November 18,2023 yakubiddwa emizinga esatu egy'emmundu era Nakadama akwasizza Mpanga ensimbi obukadde 10 okuva ewa Museveni ng’amabugo.