Ebyabadde mu kukungubagira Joyce Mpanga mu Palamenti

PALAMENTI ekungubagidde Joyce Rovinsa Mpanga ne bamutendereza olw'obuweereza obulungi eri Uganda n'okukuza abaana mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa oluvan-nyuma lwa bba Fredrick Mpanga eyaliko Ssaabawolereza wa Buganda okufa.

Omubiri gwa Joyce Mpanga nga guleeteddwa ku Palamenti eggulo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Joyce Mpanga #kukungubaga #Palamenti

Bya Kizito Musoke, Edith Namayanja ne T. Nakamya

PALAMENTI ekungubagidde Joyce Rovinsa Mpanga ne bamutendereza olw'obuweereza obulungi eri Uganda n'okukuza abaana mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa oluvan-nyuma lwa bba Fredrick Mpanga eyaliko Ssaabawolereza wa Buganda okufa.

Mu lutuula lwa Palamenti olwakubiriziddwa omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, aba-baka baasoose kuganzika bimuli ku ssanduuko omuli omubiri gw'omugenzi n'oluvannyuma ne bamwogerako ng'omukazi omuzira.

Omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Uganda, Lukia Nakadama yagambye nti Mpanga aweereza eggwanga mu ngeri ey’enjawulo kuba yaliko omukiise mu lukiiko lwa LEGCO, omumyuka w’omukulu w’essomero lya Gayaza High School, omusomesa ku yunivasite e Makerere, minisita w'ensonga z'abakazi, minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza, omubaka wa disitulikiti ye Mubende era nga ye yali omukazi owookusatu mu buvanjuba bwa Africa okufuna diguli.

Akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga yagambye nti baawaliriziddwa okuva mu kwediima kwe balimu basooke bakungubagire omugenzi Mpanga kuba ddala asaanidde.

Yagambye nti effugabbi eryali mu ggwanga mu myaka gye 1960 lyawaliriza Mpanga ne bba okudduka mu ggwanga olw'ebikolwa by'okubuzaawo abantu n'okuyigganya abavu-ganya Gavumenti okwali kuyitiridde. We yasabidde abali mu buyinza beekubemu ttooci kuba era ensonga ze zimu ezaabatwala mu nsiko.

Minisita w'ebyenjigiriza ebya waggulu JC Muyingo yagambye nti Mpanga ebbanga lyonna abadde takozesa lulimi luvuma wadde okuweebuula abalala nga bannabyabufuzi b'ennaku zino bwe bakola.

Mpanga alese abaana bana okuli; bannamateeka David Mpanga (minisita w'ebyettaka mu Buganda), Peter Mpanga eyaliko omuwandiisi wa Kabaka ow'ekyama, Lydia Ann Zawedde (Assistant Polof. mu University of Washington) ne George Mpanga abeera mu Bungereza.

Gavumenti yasazeewo aziikibwe mu bitiibwa by'eggwanga ebijjuvu.