Ow'ettima atadde obutwa mu caayi abaana babiri ne bafa abalala ne baddusibwa mu ddwaliro

4 hours ago

OMUTEMU asoobye n'alunga ebigambibwa okuba obutwa mu ccaayi ne buttirawo abaana babiri nyabwe n'asimattuka n'abalala basatu.

Abakungubazi mu lumbe lw'abana abaaweereddwa obutwa
NewVision Reporter
@NewVision
OMUTEMU asoobye n'alunga ebigambibwa okuba obutwa mu ccaayi ne buttirawo abaana babiri nyabwe n'asimattuka n'abalala basatu.
 
Bino bibadde ku kyalo Bulenzi ekisangibwa mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu mu maka ga Henry Kaganzi affiiriddwa omulundi gumu abaana  Esther Nattabi ow'emyaka omunaana ne Tabisa Nantayi ow'emyaka omukaaga. 
 
Nnyabwe Sylivia Nangota n'abalala basatu okuli Rihanna Nanfuka,Mariam Nantanda ne Isac Kisuule ow'emyaka ebiri be bakyasimattuse wadde ng'embeera yaabwe tenatereera.
Abantu nga bakung'aanue lu kukungubagira abaaweereddwa obutwa ne bafa

Abantu nga bakung'aanue lu kukungubagira abaaweereddwa obutwa ne bafa

 
BIRIMU ENKAYANA Z'EKIBANJA.
 
Kaganzi yategeezezza abadde akyaziizza kitaawe Edward Kagimu eyavudde e Jinja okusalawo eggoye ku nkayaana z'ekibanja kye baludde nga bakayanira ne kitaawe omuto Vincent Jjingo.
 
Kigambibwa nti omutemu okulunga ccaayi omukyala yabadde amaze okujjako owa Ssezaala we Kagimu ne bba Kaganzi ng'amubatwalidde we baabadde batudde nga balinda ekyeggulo okwesulako ebbanga n'ennyumba.
 
Nangota wakati mu nsisisi yanyonnyodde nti olwatwalidde Ssezaala ne bba ccaayi yazeeyo mu kiyungu n'anona eyabadde esigaddeyo ne bamunywera ku mmere mu nnyumba n'abaana.
 
"Omwana wange omukulu ye yasoose okungamba nti awulira kamunguluze n'abalala ne bangwako nga bwe basambagala n'okubimba ejjovu ne binsobera" Nangota bwe yatandise okuttotola ebyabatuseeko.
 
Yayongeddeko nti mu kiseera kyekimu naye yawulidde ng'obulamu bukyuse kwe kulaajana era bba eyabadde wabweru we yatuukidde mu nnyumba nga tebakyategeera biri ku nsi.
 
Kaganzi yagambye nti olwawulidde amaloboozi agatili ga bulijjo yayanguye okutuuka mu nnyumba kwe kusanga ng'abantu be bataawa bwe babimba ejjovu mu kamwa, ekyamuleetedde okutebeereza nti balidde obutwa. 
 
Yanyonnyodde nti yalunze mangu omunnyo  n'atandika okugubanywesa omu ku omu ng'obujjanjabi obusooka nti kyokka eby'embi abaana ababiri babadde bagonze nnyo nga tebakyasobola kumira ne bamufiira mu ngalo ng'alaba.
 
Wano yegattiddwako kitaawe Kagimu ne bakuba enduulu eyaleese abatuuze ne baddusa abaabadde bataawa mu ddwaliro lya St.Monica e Birongo gye baafunidde obujanjabi ne badda engulu ne poliisi emirambo n'egitwala mu ggwanika e Masaka.
Abakungubazi mu lumbe lw'abaana abaawereddwa obutwa

Abakungubazi mu lumbe lw'abaana abaawereddwa obutwa

 
Joseph Kizza Ddifensi w'ekyalo kino yategeezezza nti enkayana z'ekibanja wakati Kaganzi ne kitaawe omuto Jjingo zibadde zaalema akakiiko k'ekyalo kwe kutumya Kagimu ekivunanyizibwako abalamule na bino we byagwiriddewo.
 
Ssentebe w'eggombolola eno David Ssegawa yagambye nti kiteeberezebwa nti omutemu ekigendererwa kye kyabadde kya kumalawo ffamire nasaba okunoonyereza kukolebwe bazuule ekituufu. 
 
Omuwabuzi wa Pulezidenti Vincent Bamulangaki Ssempijja yomu ku bakungubazi abeetabye mu kuziika n'asaba abantu okunjolanga obuttakaanya mu buntu okwewala ebikolwa bino.
 
Akola ng'omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Fisal Magumba bino abikakasizza n'ategeeza nti bakutte Vincent Jjingo ne mukyala we babayambeko mu kunoonyereza. 
ENDS.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.