KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga mwenyamivu olw’abateekerateekera ebibuga n’abalondoozi b’ebizimbibwa obutatuukiriza buvunanyizibwa, ne baleka eggwanga okumala eggwanga liwone enzimba embi.
Katikkiro ng'ali mu kafubo n'abagenyi
Mayiga agamba nti eggwanga liri mu bulabe olw’abantu okumala gazimba n’osanga nga buli kizimbe kitunudde waakyo n’asaba wabeerewo ekikolebwa okutereeza ensonga eno.
Bino abyogeredde Bulange-Mmengo bwabadde asisinkanye aba kkampuni y’ebyamayumba eyitibwa Wilken Property Services n’agamba nti enzimba ennungi yakwongera ku nkulakulana y’ebitundu n’ebibuga.
“Simanyi abavunanyizibwa ku kuteekateeka ebibuga n’ebifo awasulwa (estates). Kiki ekigaana okulambika nti ku luguudo luno enyumba zitunula eno, ebisenge birina kufanana bwebiti. Simanyi oba abalina obuvunanyizibwa ku nsonga zino, tebatambulako mu mawanga Malala,”
Mayiga asinzidde wano n’awa bonna abatandika kkampuni okuzitambuliza ku bweruufu, okugaba emirimu okusinzira ku bukugu, okukomya okwejjalabya oluvanyuma lw’okufuna amagoba okusobola okuziwangaaza.
“ Mpulidde nga mwagala okukolagana obulungi n’Obwakabaka. Kino kirungi era tukyaniriza. Tulina okukwatagana, tulabe nga tutereeza embeera y’enzimba mu ggwanga lyaffe,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro ng'asiibula abagenyi
Ye akulira emirimu mu kkampuni eno eya Wilken Property Services, Kenneth Ssemmanda ategezezza ng’eggwanga bwerikyalina ekizibu ky’amayumba agali ku mutindo nga wetaaga okubeerawo ekikolebwa.
Ssemmanda asabye gavumenti okufuba okulaba ng’abantu bazimba okusinzira ku pulani eziri mu bitundu nga kino kyakusobozesa eggwanga okuteekerateekera emirembe eginaddako.
Bano abaaatandika omulimu gw’ebyamayumba emyaka 16 emabega, baleese oluwalo lwa bukadde busatu okuwagira emirimu gy’Obwakabaka egy’ebyenkulakulana saako n’ebirabo ebiwerako ebya Katikkiro.