EKISAAKAATE kya Nnaabagereka eky’omulundi ogwe 19 kitongozeddwa wakati mu kukubiriza abazadde n’abalabirira abaana okubateeka mu mbeera etebenkeza ebirowoozo n’obwongo bwaabwe.
Omukolo gw’okutongoza Ekisaakaate kino gubadde ku mbuga y’Obwakabaka bwa Buganda enkulu e Bulange-Mmengo nga Maama Nnaabagereka akiikkiriddwa Minisita w’abavubuka, emizannyo n’ebitone mu Buganda, Ssaalongo Robert Sserwanga.
Sserwanga asinzidde wano n’asaba abazadde okwewala ebyo ebireetera abaana okwenyamira, okwenyika emmeme n’okutubira mu birowoozo.
Minisita Sserwanga yeebazizza Omukungu Mike Kironde olw’okubeera Munnamukago w’Ekisaakaate Kya Nnaabagereka bweyeyamye okuvujjirira enteekateeka eno n’obukadde 10 buli mwaka n’asaba n’ebitongole ebirala okukopa eky’okulabirako kino, bajje bagiwagire era neyeebaza n’ebitongole ebirala ebizze biwagira omulimu guno.
Ssentebe wa bboodi ya Nnaabagereka Development Foundation, ekitongole ekitegeka ekisaakaate, Dr. Jeff Mukasa Ssebuyira ategezezza ng’Omulundi guno, essira bweritereddwa ku kubangula n’okuteekateeka abaana mu ngeri y’okwetangira endwadde z’emitwe.
Okutongoza ekisaakaate
Omulamwa gw’Ekisaakaate kya 2026 gugamba nti “ Ensibuko y’obumalirivu: Okweyamba obuntubulamu mu kutebenkeza obwongo”.
Ekisaakaate 2025 kyategekebwa ku Janan SS e Bombo-Kalule era Dayirekita w’amassomero ga Janan, Kironde yeebazizza Nnaabagereka olw’okubawa omukisa ogw’okumwegattako okugunjula abaana b’eggwanga kubanga abaana b’ensangi zino beetaaga okufiibwako.
Ekisaakaate 2026 kigenda kutandika nga January 3-17,2-2026 nga kyakuyindira ku Homisdallen P/S e Gayaza ng’eno gyekyaali mu 2024 era Omukulu w’essomero lino Nickson Kalyango ategezezza nga bwebali abeetegefu okukyaaza abaneetaba mu kisaakaate kino.
Ekisaakaate kya Nnaabagereka kyatandikibwa mu 2007 era nga kitambuzibwa mu massomero ag’enjawulo. Abaana ku mukolo guno bakubaganyiza ebirowoozo eby’enjawulo ku ngeri y’okutangiramu endwadde z’obwongo.