Owebyenjigiriza abakuutiddeku biragiro bya minisitule

AKULIRA ebyenjigiriza mu Distulikiti y’e Wakiso, Fredrick Kiyingi Kinobe asabye abakulu b’amasomero n’abazadde okugoberera ebiragiro ebyateekebwawo minisitule y’ebyenjigiriza okulungamya amasomero ng’abo abataakikole omukono ogw’ekyuma gwakubakolako.

Kinobe ng’ayogera eri abazadde, abasomesa n’abayizi. Ku ddyo ye mukulu w’essomero, Alice Nakibuule.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKULIRA ebyenjigiriza mu Distulikiti y’e Wakiso, Fredrick Kiyingi Kinobe asabye abakulu b’amasomero n’abazadde okugoberera ebiragiro ebyateekebwawo minisitule y’ebyenjigiriza okulungamya amasomero ng’abo abataakikole omukono ogw’ekyuma gwakubakolako.
‘’Omuzadde otuuka otya ku ssa eryesittaza omwana wo ng’ogendera mu mmini ku ssomero; abakyala bajjira mu bu ‘party dress’ obutasaana n’empale ezibatippa. Waliwo n’abazadde abasajja abambala empale enyimpi nga bagenda ku masomero oli n’ayambala akawale akamukwata yenna n’abeera ng’ali obukunya era ba asikaali mugaane abantu bano okuyingira mu masomero,’’ Kinobe bye yayogedde.
Yategeezezza nga okukyalira abaana bwe kulina okubeera okw’omulundi ogumu mu ttaamu ate nga abakyadde tebalina kusukka bantu bana, nga tebalina kuleeta byakulya ku masomero kubanga abazadde abamu babadde baleeta enkumuliitu y’ebintu nga balinga abagenda ku mukolo. Yayogedde ne ku bubaga bw’abayizi abagenda okukola ebigezo eby’akamalirizo obwa prom nti bwayimirizibwa.
Kinobe bino yabyogeredde ku ssomero lya St Mary’s High School Gayaza -Mawule mu muluka gw’e Katadde mu Ggombolola y’e Nangabo mu Kasangati Town Council, abayizi bwe baabadde battunka mu kwolesa ebitone mu kuyimba, katemba, amazina n’ebirala nga bayita mu nnyumba zaabwe okuli Venus, Neptune, Mars ne Jupiter nga omuwanguzi yaweereddwa ssedume w’ente n’ekikopo ku mukolo ogwetabiddwako n’abazadde.
Omukulu w’essomero, Alice Nakibuule yagambye nti bafuba okulaba ng’abaana batumbula ebitone byabwe n’okuyiga emisomo gy’omu mutwe n’ebyemikono.