Poliisi erinnye eggere mu lukiiko lwa dokita w’e Bulaaya okusomesa ku butonde

POLIISI erinnye eggere mu lukiiko lwa dokita w’e Bulaaya, Dennis Daniel Ssemugenyi lwe yayise okusomesa abantu ku kukuuma obutonde bw’ensi nga basimba emiti n’okwekulaakulanya ng’ayita ku mitimbagano.

baagendedde mu kosita nga basobeddwa olw’olukiiko okulubagobya.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI erinnye eggere mu lukiiko lwa dokita w’e Bulaaya, Dennis Daniel Ssemugenyi lwe yayise okusomesa abantu ku kukuuma obutonde bw’ensi nga basimba emiti n’okwekulaakulanya ng’ayita ku mitimbagano.
Mmotoka zaasombye abantu nga bwe zibayiwa ku kisaawe e Nabweru we yabadde ategekedde olukuhhaana. Yapangisizza weema n’entimbe kwe yabadde agenda
okuyisa obubaka bwe ng’asinziira bweru wa ggwanga era ng’ataddewo ebyokulya n’okunywa babigabule abali mu musomo.
Ku ssaawa 3:00 ez’oku makya ku Lwomukaaga, buli kimu ekyategekeddwa nga kimalirizibwa nga bbaasi zitandise okutuusa abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo,
poliisi y’e Nansana yalagidde nti olukiiko terumanyi era teruteekeddwa kubaawo. Abategesi baggyeeyo ebbaluwa eriko omukono gwa Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi
ng’eriko sitampu ya poliisi gye yafuna nga July 31, 2025 eraga nti baagitegeeza.
Ku ssimu, Dr. Ssemugenyi yeewuunyizza engeri poliisi gye yamwegaanye n’emufiiriza bye yabadde ataddemu okukuhhaanya abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo ate nga yabadde agenderera kuyamba bannansi kubasomesa ku bwereere.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi atwala Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire  agambye nti baabadde tebanneetegereza bigendererwa byalyo. Abamu ku bategesi
baategeezezza nti baagaaniddwa olw’okuba baabadde balabye entegeka nga ya bbeeyi ate n’abantu nga bagenda kuba bangi. Wadde  poliisi  olukiiko yalugaanye
 aye teyasindise muserikale waayo yenna ayambadde kyambalo kya poliisi ku kifo
awaabadde wategekeddwa lukiiko. Obwedda eyogera butereevu n’abategesi buli kimu ne bakiggyawo nga tebakutte.
Dr. Ssemugenyi ye yaloopa Gavumenti mu kkooti olw’okukolaennongoosereza mu kkooti y’amagye (UPDF) n’ezzaamu obuwaayiro obulagira abantu ba bulijjo okuvunaanibwa mu kkooti eno ate nga yali eggyiddwaako kkooti ensukkulumu.