AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo atwalidde bannayugada abali ku kyeyo e South Afrika ssente z’okwekulaakulanya eziri mu buwumbi okuva ew’omukulembeze w’e ggwanga oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga bamulajanira.
Guno gwe mulundi ogw’okubiri mu bbanga lya wiiki bbiri nga Namyalo agenda e South okulambula bannayuganda abaludde nga balajanira Pulezidenti Museveni n’abo abakwattireeko basobole okuva mu bwavu wadde abasinga bava kuno nga batunze ebyabwe nga balowooza nti y’e ggulu ly’oku nsi ekitali kituufu.
Namyalo yagenda e South Afrika omulundi ogwasooka nga July/12/2025 nasisinakana bannayuganda mu bitundu eby’enjawulo kyokka abasinga omuli n’abali mu kibiina kya NUP ne bamugamba nti abamu bibatamye baagala kudda waka kyokka nga batya okubakwattira ku kisaawe.
Namyalo ng'ayogera eri abantu e South Africa
Abalala bamusaba abagambire Pulezidengti Museveni abaawe ku ntandikwa naddala abakyala kubanga abasinga abatalina basajja nga be ba maama ate ba taata ku baana baabwe nga babaleeka e Uganda nga bamaze okubatundako buli kimu kyokka bagenda okutuuka eyo kye bali basubira nga si bwe kiri.
August/02 /2025 Namyalo yatukidde mu kibuga Sandton, Johannesburg, Rosettenville, nadda Mayfair gye yabadde yakatuukako kyokka nga akyagenda mu maaso n’okutalaga ebitundu ebirala nga awa ebibinja bya bannayiuganda abawangalirayo ssente ebisukka 20, buli kimu omutwalo gwa ddoola eza wano 36,000,000/- mu SACCO zabwe okuva ewa Pulzeidenti Museveni
Ekimu kibinja kye yasisisnkanye kyabadde kya De Bank, abadde amanyiddwa nnyo ng’ow’oludda oluvuganya gavumenti yebazizza Namyalo okutuusa ku bannayuganda ababeera e South Afrika okuva ewa Pulezidenti Museveni kubanga bangi babadde balowooza nti berabirwa.
“Namyalo yabasubizza okwongera okubasaakira ssente z’entandikwa okuva ewa Pulezidenti Museveni omuli ensimbi enkalu bafune ebye bakola gattako n’abo abaagala okudda mu Uganda Pulezidenti ajja kubakoleera ku nteekateeka baleme ku bakwattira ku bisaawe kubanga abamu bagenda bazizza emisango” Namyalo bweyategezezza.
Yasisinkanye n’e kibinja kya Sarah Jamil n’abawa omutwalo gwa ddoola ebibinja ebirala mulimu ekya Sowed Kasim babeera Turffontein, single mothers b’e Sandton, Limpopo women development, women empowerment mu Pretoria abakulemberwa chairlady Mable, women development Centre Kabalaza aba Breanda Kantalama n’ebibinja ebirala byonna byafunye mutwalo gwa ddoola.
Namyalo era yasisinkanye ne bannayuganda abasukka 2000, abeetabye mu lukungaana lwa bannayuganda abawangalira mu mawanga ga South Afrika olubeerawo buli mwaka oluyitiibwa “Confederation Of Ugandans in Southern Africa” COUSA olwatutudde mu kibuga kya Pretoria ku “Birchwood Hotel & OR Tambo Conference Centre” nabo nabawa omutwalo.
Namyalo ne Balaam nga bali e south Africa
Yabasabye basigale nga baganyulwa mu nkulaakulana ya gavumenti yabwe eya Uganda basobole okuganyulwa mu nkulaakulana okusobola okulwana obwavu
Wabula Namyalo teyasanze kaseera kangu bwe yatuuse mu bannayuganda ababeera mu kibuga Langalakta, Mayfair ne Gauteng abaduumirwa Moses Kizito amanyiddwa nga MK, esinga obuwagizi bw’ekibiina kya NUP abamulangidde okubeera ye ne bakungu banne abalya mu ngalo za Museveni tebayambye bannayuganda ku musaba awumule Kyagulanyi akwattemu mu nkatta annunule eggwanga.
“Twava e Uganda nga embeera mbi kyokka buli lunnaku yeyongera kwonooneka wadde Namyalo yabawakanyiza nabasaba bakomewo balabe Uganda amaata okuli enguudo z’omu Kampala n’emiriraano zonna mu kiseera kino ezikolebwa, Gavumenti yateekawo enkolaya PDM, emyogga, ssente za Grow ez’a bakyala eziyambye abantu okwejja mu bwavu