ABATUUZE ku kyalo kye Kirinyabigo e Kawanda mu divizoni ye Nabweru bali mu maziga oluvanyuma ly'omwana wa mutuuze munnaabwe okubula mu ngeri etategeerekeka nga kati amaze sabiiti bbiri nga tebamanyi gyali ekintu ekiberalikirizza nga bagamba nti ku kitundu kuno abaana babula kyokka ne bazuulibwa nga battiddwa.
Ronald Tendo Lule eyabuze ku bazadde be
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision
ABATUUZE ku kyalo kye Kirinyabigo e Kawanda mu divizoni ye Nabweru bali mu maziga oluvanyuma ly'omwana wa mutuuze munnaabwe okubula mu ngeri etategeerekeka nga kati amaze sabiiti bbiri nga tebamanyi gyali ekintu ekiberalikirizza nga bagamba nti ku kitundu kuno abaana babula kyokka ne bazuulibwa nga battiddwa.
Ronald Tendo Lule 18 yeyewanisizza emitima gy'abatuuze ku ngeri gyeyabulamu awaka nga mu kuva awaka tewali kintu kyonna kyeyatwala wabula yagenda nga agenda okudda kyokka n'atakomawo nga okuva Tendo bweyabula kati wayise ebbanga lya sabiiti bbiri.
Maama wa Tendo nga ye Lukia Nansereko abadde omunyikaavu agambye nti mutabani we yasooka kulowooza nti agenze kukola naye ebintu byonna yabileka nga kati yasigala kwebuuza wa mutabani we gyeyalaga nga essimu ye yasooka kuberako nebagyikuba nga eyitamu naye nga tewali akwata kyokka kati bagyigyako nebwebagyikuba teliiko era nga atambudde ebifo ebyenjawulo okuli ne mu malwaliro nga anoonya mutabani we saako ne mu gwanika e Mulago naye tewali kyalaba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirano Patrick Onyango yakakasizza okubula kwa Tendo kyokka nagamba nti poliisi eri mu kawefube w'okumunoonya okulaba nga bamuzuula