Owa UPDF aleppuka na gwakujingirira biwandiiko bya poliisi

Robert Matanda 49, omutuuze w’e Kawuku ku luguudo lw’e Ntebe ye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi n’asomerwa emisango 3!

Owa UPDF aleppuka na gwakujingirira biwandiiko bya poliisi
NewVision Reporter
@NewVision
#Matanda #Buganda road #Kkooti #Misango #Kujingirira

EYALI omujaasi wa UPDF asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n’asomerwa emisango 3 egy’okujingirira ebiwandiiko ng’alaga nti bivudde mu poliisi n’abitwalira omukozi mu minisitule ekola ku nsonga z’ettaka nga amutiisizzatiisizza okumunoonyerezaako.

Robert Matanda 49, omutuuze w’e Kawuku ku luguudo lw’e Ntebe ye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi  Jalia Basajjabalaba n’asomerwa emisango 3 ku bigambibwa nti yatwala ebiwandiiko ebijingirire n’abiwa Aisha Kibira, omukozi mu minisitule evunaanyizibwa ku ttaka ng’amulaze nti bivudde ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango e Kibuli.

Omuserikale Ng'awerekera Matanda Okumutwala Ku Kkooti Ya Buganda Road Ku Lwokutaano .

Omuserikale Ng'awerekera Matanda Okumutwala Ku Kkooti Ya Buganda Road Ku Lwokutaano .

Kigambibwa nti nga July 19, 2024, Matanda yagenda ku ofiisi za minisitule y’ettaka n’amayumba n’okukulaakulanya ebibuga ku Parliamentary Avenue ng’akimanyi bulungi n’awaayo ekiwandiiko ekijingirire ng’alaga nti kyavudde ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku misango era nga kiteereddwako omukono gwa ACP Mark Odong ennaku z’omwezi nga May 28 2024. 

Kigambibwa era nti nga July 19, 2024  Matanda yawaayo ekiwandiiko ku minisitule y’ettaka ng’alaga nti kiva ku kitebe ekinoonyereza ku misango e Kibuli eri Aisha Kibirira nga kiteereddwako omukono gwa Mark Odong nga kiriko ennaku z’omwezi 11, January 2024. 

Omusango ogw’okusatu nagwo gwakujingirira ekiwandiiko ng’ali ku ofiisi za minisitule evunaanyizibwa ku ttaka. Matanda emisango gyonna egyamusomeddwa yagyegaanyi n’asaba kkooti emukkirize okweyimirirwa wabula omulamuzi n’amutegeeza nga bw’ajja okuzzibwa mu kkooti nga August 1, 2024 era lw’ajja okukkiriza okusaba okw’okumweyimirira.

Abaserikale okuva ku poliisi ya CPS babadde batwala Matanda ate n’evaayo abalala okuva ku poliisi y’e Kiryandongo nga nabo baagala okumutwala avunaanibwe kuba nabo bamulinako ffayiro z’emisango.

Ku Lwokutaano abaserikale Matanda basoose kumutwala mu makage e Kawuku okubaako ebiwandiiko bye banoonya n’okukuŋŋaanya obujulizi obulala.

 

Login to begin your journey to our premium content