Hassan Makombe 20, ng’akola gwa bulimi ne Emmanuel Wakoko 21, akola emirimu egya lejjalejja nga bombi batuuze ku kyalo Nashikhaso mu muluka gw’e Bushikori mu ggombolola ye’ Bungokho basimbiddwa mu kkooti ya magye ne bakkiriza emisango gino.
Abawawaabirwa Mu Kaguli Ka Kkooti Ya Magye.
Ssentebe wa kkooti, Brig. Gen. Freeman Mugabe abasomedde emisango esatu okuli obwakkondo ssaako ebiri egy’okubeera n’ebyokulwanyisa mu bukyamu.
Ebikwata ku musango eby’oludda oluwaabi bigamba nti nga January 30, 2023 e Bunamiliiro , mu muluku gw’e Bukiende e Mbale, baanyaga Kenneth Matanda ssente ze 150,000/= n’essimu ekika kya Tecno.
Oluvannyuma lw’obunyazi abawawaabirwa baalina emmundu bbiri zonna kika kya SMG ezigambibwa nti za bamukwatammunda. Omuwaabi wa gavumenti, Lt Alex Mukhwana ategeezezza kkooti nti emmundu zino zaali z’akulira poliisi ya Bungokho police post, eyali yabudamya Makombe ng’abeera naye nga omwana we.
Bano era bakkirizza okubeera n’emmundu endala nga January 31, 2023 mu Nangwasi Cell Nabumali sub county ng’era balina amasasi 14 agakola obulungi.
Bano wamu bakkirizza nti bwe baali bagenda gye bazize omunyago , Wephukulu (yasibwa emyaka 15) ng’avuga bodaboda nnamba UEX 481V baafuna akabenje era ne badduka kyokka Wephukulu n’ayisibwa bubi. Abatuuze bajja okumudduukiria kyokka baamusanga n’emmundu mu kkutiya.
Looya waabwe, Capt Simon Nsubuga Busagwa yagambye kkooti nti mu kiseera we baddiza emisango Makombe yali tannaweza myaka 18 nga kirabika yasendebwasendebwa abantu abalala ate Wakoko yali yaakagiweza nga naye kirabika bamukozesa bukozesa.
Kyokka oludda oluwaabi lusabye bano baweebwe ekibonerezo ekikali kubanga emisango gino gyeyongedde nnyo mu ggwanga nga noolwekyo kyetaaga okussaawo ebibonerezo okutangira abandyenyigidde mu misango bwe giti.
Munnaabwe Ivan Wekoye omugoba wa bodaboda emisango gyonna agyegaanyi. Kkooti ewadde olwa January 22, 2024 okubasalira ekibonerezo.