Owabbooda akaligiddwa emyaka 17 mu nkomyo lwa kusangibwa na mmundu ya UPDF

Omugoba wa bodaboda e Nashikhanso mu disitukiti y’e Mbale y’akaligiddwa emyaka 17 olw'okukola obwakkondo n'okusangibwa n'emmundu

Owabbooda akaligiddwa emyaka 17 mu nkomyo lwa kusangibwa na mmundu ya UPDF
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Kkooti #Kkondo #Bboda

Ivan Wephukulu 25, omugoba wa bodaboda e Nashikhanso mu disitukiti y’e Mbale y’akaligiddwa emyaka 17 lwa kukola bwakkondo n'okusangibwa n’emmundu ya UPDF.

Wepukhulu Mu Kaguli Ka Kkooti.

Wepukhulu Mu Kaguli Ka Kkooti.

Kkooti y’amagye etuula e Makindye ekalize Wephukulu emyaka 17 mu nkomyo era ssentebe wa kkooti eno, Brig, Gen. Freeman Robert Mugabe bwe yabadde amusomera ekibonerezo yamugambye nti omusango gwe yazza gwa nnaggomola wabula kkooti yamukwatiddwa ekisa n’emuwa ekibonerezo ekisasaamusaamu.

Mugabe agambye nti emisango gino gyeyongedde nnyo mu ggwanga nga gyetaaga okukendeezebwa era kino akkiriziganya n’oludda oluwaabi nti okuwa ebibonerezo ebikakali kijja kuyamba okukendeeza emisango egyo.

Yamugambye nti bamusalidde ku kibonerezo ky’okufa ne bamuwa emyaka 17, n’emyezi 10 n’ennaku 16 z’agenda okumalayo mu kkomera. Yayongeddeko nti waddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno mu nnaku 14 okuva lwe bamusalidde.

Wephukulu asibiddwa oluvannyuma lw’okukkiriza emisango esatu okuli obwakkondo bwe yalimu ne banne ne banyaga ssente 150,000/= okuva ku Kenneth Matanda ng’ono alina ebbaala era ne batwala n’essimu Tecno Pop 6.

Bino baabikola nga January 30,2023 nga bakozesa emmundu bbiri nga zonna za bamukwatammundu aba UPDF era baalina amasasi 14 agakola obulungi.

Abadde avunaanibwa n’abalala okuli Hassan Makombe, Ivan Wekoye, ne Emmanuel Wakoko ng’emisango baagizza nga February 14, 2023.

Wephukulu ng’avuga bodaboda nnamba UEX 481V baafuna akabenje era wano banne bonna badduka kyokka ye n’ayisibwa bubi. Abatuuze bajja okumudduukiria olwo ne bamusanga n’emmundu mu kkutiya.

 

Login to begin your journey to our premium content