ABABBA emmundu bbiri (2) ez’akulira poliisi ne batigomya abatuuze e Mbale gubasse mu vvi.
Hassan Makombe 20, ng’akola gwa bulimi ne Emmanuel Wakoko 21, akola emirimu gya lejjalejja nga bombi batuuze ku kyalo Nashikhaso mu ggombolola y’e Bungokho basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bakkiriza emisango. Ssentebe wa kkooti Brig. Gen. Freeman Mugabe yabasomedde emisango esatu okuli obwakkondo ssaako ebiri egy’okubeeran’ebyokulwanyisa mu bukyamu. Kigambibwa nti nga January 30,
2023 e Bunamiliiro, Bukiende e Mbale baanyaga Kenneth Matanda 150,000/- n’essimu.
Oluvannyuma lw’obunyazi, abawawaabirwa baalina emmundu bbiri okuli; UG POL 561310026709193 ne UG POL 56-590890634829 zonna kya SMG ezigambibwa nti za bamukwatammundu.
Omuwaabi wa gavumenti Lt. Alex Mukhwana yategeezezza kkooti nti emmundu zino zaali za akulira poliisi ya Bungokho eyali yabudamya Makombe ng’abeera naye ng’omwana we.
Bano bakkirizza nti bwe baali bagenda gye baddiza omusango, Wephukulu 15, ng’avuga bodaboda nnamba UEX 481V baafuna akabenje era ne badduka kyokka Wephukulu n’ayisibwa bubi. Abatuuze bajja okumudduukiria kyokka baamusanga n’emmundu mu kkutiya.
Kkooti yawadde olwa January 22, 2024 okubasalira ekibonerezo.