Bya Margret Zalwango
OW'AKABINJA akabbisa emmundu e Mbale waakumala mu nkomyo emyaka 25.
Emmanuel Wakoko 21, akola mirimu gya lejjalejja omutuuze ku kyalo Nashikhaso omuluka gw'e Bushikori mu ggombolola ye Bungokho yaakaligiddwa kkooti y'amagye e Makindye oluvannyuma lw'omusango okumusinga.
Bano kigambibwa nti be bamu ku kabinja akaali katigomya abatuuze e Mbale.
Wakoko abadde avunaanibwa ne Hassan Makombe ng'ono yayimbuddwa oluvannyuma lw'okulabulwa kwa kkooti kubanga weyaddiza omusango yali akyali wansi w'emyaka 18 nga kkooti yagambye nti alabika yasendebwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.
Ssentebe wa kkooti, Brig. Gen Freeman Mugabe bwe yabadde asiba Wakoko yagambye nti emisango gino mingi nnyo mu ggwanga kyokka Wakoko yakkiriza omusango ekiraga nti yeenenyezza ate n'atayonoona budde bwa kkooti.
Wakoko yali yasaba kkooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu kubanga muvubuka muto ate tayonoonye budde bwa kkooti bw'atyo ne bamusalira omwaka guno ssaako emyezi mwenda gy'amaze ku limandi nga kati agenda kusiba emyaka 23 mu kkomera.
Wakoko emisango egyamusibizza kuliko obwakkondo ssaako okubeera n'ebyambalo bya UPDF mu bukyamu. Emisango yagizza nga January 30, 2023 e Bunamiliiro e Bukiende mu distukiti y'e Mbale bwe baanyaga Kenneth Matanda ssente ze 150,000/- n'essimu ekika techno.
Oluvannyuma lw'obunyazi oba mu kukola ebyo abawawabirwa baalina emmundu bbiri okuli: UG POL 561310026709193 ne UG POL 56-590890634829 zonna kika kya SMG ezigambibwa nti za bamukwatammundu.
Bano era bakkirizza nti bukyamu baalina n'emmundu UG POL 56-590890634829 nga January 31,2023 mu Nangwasi Cell Nabumali sub county ng'era balina amasasi 14 agakola obulungi.
Abasibe okukwatibwa kyaddirira munnaabwe Wephukulu (yasibwa emyaka 15) ng’avuga bodaboda nnamba UEX 481V, baafuna akabenje era ne badduka kyokka Wephukulu n'ayisibwa bubi. Abatuuze bajja okumudduukiria kyokka baamusanga n’emundu mu kkutiya.