Poliisi ekutte abasajja babiri abeesibye enjegere ku muti e Nateete nga bawakanya enguzi mu ggwanga n’ebawalaawala okutuusa mu kkooti gye bavunaaniddwa ogw’ekweyisa ng’ekitagasa.
Sharif Kawooya amanyiddwa nga Moses Kajambiya ne Augustine Matanda be baakwatiddwa ku bigambibwa nti baaleeseewo akajagalalo okulinaana akatale k’e Nateete bwe beesibye enjegere mbu bawakanya obuli bw’enguzi obususse mu ggwanga.
Ashraf Kawooya (Ku Ddyo) Ne Augustine Batanda Mu Kkooti E Mengo.(1)
Poliisi okuva ku e Nateete nga October 24, 2024 yasanga abasajja bano nga beetuzze ku muti gw’amasannyalaze nga baleekaanira waggulu nti obuli bw’enguzi mu ggwanga bwe bwaviirako okufa kw’abantu mu kasasiro w’e Kiteezi.
Abaserikale kino baakitutte nti baabadde bamalako abantu eddembe lyabwe kwe kubaggulako ogw’ekiyisa ng’ekitagasa mu kitundu.
Oluvannyuma lw’okusula mu kaduukulu ka poliisi, baaleeteddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ne basimbibwa mu maaso g’omulamuzi Amon Mugezi eyabasomedde ne bagwegaana.
Baalaajanidde omulamuzi Mugezi ne bamusaba abayimbule n’awulira okusaba kwabwe n’abata ku kakalu ka kkooti ka kakadde kamu ezitali za buliwo.