Owa Sudan agobye Minisita we ow’ensonga ez’omunda; abadde yaakagoba Gavana

MUNNAMAGYE akulembera eggwanga lya Sudan, Lt Gen Abdel Fattah al-Burhan afuumudde abadde akola nga Minisita we ow’ensonga ez’omunda

Owa Sudan agobye Minisita we ow’ensonga ez’omunda; abadde yaakagoba Gavana
By Wilson Williams Ssemmanda
Journalists @New Vision
#Amawulire

Kartoum, Sudan

MUNNAMAGYE akulembera eggwanga lya Sudan, Lt Gen Abdel Fattah al-Burhan afuumudde abadde akola nga Minisita we ow’ensonga ez’omunda,Anan Hamed Mohammed Omar, era abadde akulira poliisi ya Sudan.

Mu kiwandiiko mw’amugobedde, Gen Fattah alangiridde nti amusikizza Khalid Hassan Muhyi al-Din okukulira poliisi.

 

Mu kiwandiiko kino,Burhan tawadde nsonga emuleetedde kukola kino, kyokka bannansi tekibakanze nnyo kubanga mu ngeri y’emu, abadde yaakagoba abadde Gavana wa bbanka ya Sudan enkulu n’abakungu abalala babiri mu minisitule y’ensonga ez’ebweru.

Kinajjukirwa nti poliisi teyeetabye mu lutalo oluyinda e Sudan era Terina kikwekweto kyonna ky’ekoze mu bifo olutalo gye luyindira omuli:Khartoum n’ebitundu ebiriraanyeewo.

Okutuusa lwe gwaweze omwezi mulamba, enjuyi ezirwanagana omuli olwa Gavumenti ya bannamagye eriko - Sudanese Armed Forces (SAF) n’akabinja k’amagye ak’enjawulo aka Paramilitary Rapid Support Forces (RSF) zibadde tezinnassa wansi byakulwanyisa newankubadde nga wabaddewo kaweefube okuleetawo emirembe nga akulembeddwa amawanga nga America, Saudi Arabia n’amalala.