Owa Sudan afunye ennyonyi n’akuba Genero awabi

OWA Sudan afunye ennyonyi n’akuba genero ayagala okumusuuza entebe, awabi.Gen. Abdel Fattah al-Burhan eyawamba Gen. Omar al Bashir n’atuula mu ntebe y’eggwanga eryo, ku Lwokuna yakubye abayeekera abaamwewagguddeko. Mu lukuba luno olukyaludde okubaawo, ekibuga Khartoum kyatuntumuse omuliro.

Gen. Fattah, afuga Sudan.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OWA Sudan afunye ennyonyi n’akuba genero ayagala okumusuuza entebe, awabi.
Gen. Abdel Fattah al-Burhan eyawamba Gen. Omar al Bashir n’atuula mu ntebe y’eggwanga eryo, ku Lwokuna yakubye abayeekera abaamwewagguddeko. Mu lukuba luno olukyaludde okubaawo, ekibuga Khartoum kyatuntumuse omuliro.
Byatandise Gen. Mohamed Hamdan Dagalo ow’ekibiina ky’amagye ekya Rapid Support Forces (RSF) ekyagala okuggya Gen. Fattah mu ntebe, kimaze kukuba mmundu eyabuzeeko okumuddusa mu maka g’Obwapulezidenti ky’ava abuuza basajja be nti, eby’okulwanyisa eby’abaamaanyi bye balina bikola ki?
Ate ebyo okubaawo, abayeekera ba Gen. Dagalo tebaasoose kumanya nti Gen. Fattah yayingizzaawo ennyonyi za Russia ez’omutawaana.
Ennyonyi ekika kya Sukhoi zaawanuse mu bitundu bya Sudan eby’enjawulo ne ziwandagaza mizayiro ez’okumukumu n’ebikompola ku nfo z’abayeekera ne zittamu abawera, katono ne Gen. Dagalo kennyini zimutwaliremu.


Zaakubye awatali kusosola nkambi ya muyeekera na maka g’abantu kubanga amagye ga Gavumenti agaduumirwa Gen. Fattah gagamba nti abayeekera baawamba amaka g’abantu baabulijjo era basula nabo noolwekyo kizibu okukuba abayeekera olw’okwekweka mu bantu.
Kino kitegeeza nti ebyalo n’ebyalo byayokeddwa mu ngeri ya butataliza nga buli kizimbe ekisuubirwamu abayeekera nga bambega ba Gavumenti bwe baba baakirambise, kyasigadde ku ttaka mu lutemya lw’eriiso ng’ennyonyi ezaabadde zidduka nga kibunoomu ziyise.
Kino kye kivuddeko olutalo luno okufiiramu abantu abangi mu wiiki bbiri zokka ze lwakamala.
ABANTU 512 BE BAAKAFA
Amawulire ga AFP gagamba nti, abantu 512 be baakalufiiramu abalala 4,193 be balumiziddwa.
Ekibiina kya Doctors’ union ekigatta abasawo mu Sudan kigamba nti n’amalwaliro gaakubiddwa ababadde baalumizibwa olutalo ne beewogomayo nga bafuna obujjanjabi ate ne babasangayo ne battibwa ng’abataliiko baabwe.
Ng’ennyanja bw’ekutta nga naawe omira waakiri obeeko nayo amazzi amatonotono g’ogifiiriza, Gen. Dagalo yaggyeeyo ku bukodyo n’asinsumula basajja ba Gen. Fattah katono amunyiye ekikompola.
Dagalo talina nnyonyi wabula yafuna ttanka n’emmundu endala eyakazibwako erya Katyusha rocket launcher ewandula ebikompola ebyokumukumu.
Ezo ze yakozesezza okukuba n’okuyiwa ebizimbe bya Gavumenti mwe yabadde asuubira amagye ga Gen. Fattah n’azingiramu nabuli eyategeera ku ntandikwa y’olutalo luno n’eyabadde akyebuuza kwe lwava ne basirikka.
Gye byakkidde ng’ekibuga Khartoum kiwunya vvumbe n’amaka mangi nga gasaanyiziddwaawo naddala agaabadde gakkirizza okubudamya abayeekera.
Okumanya olutalo luno lufuukidde ddala luzibu, abayeekera bwe batuuka mu kitundu ne bakiwamba, tekibakwatako oba mubakkirizza oba nedda kyokka mulina kubeera nabo. Waakiri bakola weema zaabwe mu luggya ne mubeera nabo.
Kati amagye ga Sudan bwe gaketta ne galaba emmundu mu luggya nga gasindika ennyonyi ng’ezookya n’abaliraanyewo.
Omubaka w’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations amanyiddwa nga Abdou Dieng, yasinzidde ku mwalo gwa Port Sudan ku Lwokuna ng’amaze okulaba ekyaguddewo ng’ennyonyi za Gavumenti ziseesa buli kiramu n’alaga okutya ku kiddako eri abantu olw’olutalo luno.
Ezimu ku nnyonyi ezaaleese akasattiro mu lutalo zaagulwa ku mulembe gwa Gen. Bashir n’azissa mu ggye lya Sudanese Air Force kyokka kigambibwa nti endala zaasindikibwa Vladimir Putin wa Russia, azze awagira Gavumenti ya Gen. Fattah mu bubba nga balina ddiiru y’okuzimba eggye ly’oku mazzi ku liyanja lya Red Sea littunke n’eggye lya America eriri ku liyanja lye limu.
Kigambibwa nti Gen. Dagalo awagirwa America.