Mu kuziika okwabadde ku kyalo Kiweesa e Buloba ku lw’e Mityana ku Lwokutaano aboogezi ab’enjawulo okwabadde ne Loodi Mmeeya Erias Lukwago baalaze obweraliikirivu ku ngeri amasomero ga Sir Apollo Kaggwa gye gagenda okuddukanyizibwamu Ssewava w’atali.
Akulira amasomero gano aga Sir Apollo Kaggwa, Rose Nantanda, yagambye nti, omugenzi abadde amanyi nti okufa kusobola okumutuukako ekiseera kyonna era nga yakwetegekera.
Yabategeka mu mbeera esobozesa amasomero okutambuzibwa obulungi ne bw’abeera taliiwo. Ekimu ku kye yabakuutira kwe kusigala nga batambuliza wamu amasomero awatali kugaawulamu.
Ssewava yalese ataddewo olukiiko lw’abayima abagenda okulabirira amasomero gonna nga gakolera wamu ng’ekitole.
Wansi w’olukiiko lw’abayima, waliwo ebitongole ebyenjawulo ebirondoola emirimu gyonna egikolebwa. Okugeza waliwo ekitongole ekirondoola omutindo, ekitongole ky’ebyemizannyo, ekitongole ky’okunoonyereza n’ebirala.
Waliwo ekitongole ky’ebyensimbi ekirondoola ennyingiza n’enfulumya mu masomero gonna era bano be batuula ne basalawo bwe kiba kyetaagisa okwongeza ssente.
Yaleseewo enkola y’okuwa abakulira amasomero n’abasomesa ekkatala buli omu ly’alina okutuukiriza buli mwaka. Singa omukulu w’essomero oba omusomesa alemwa, asobola okukyusibwa n’atwalibwa mu masomero g’abadde yaakagula oba okumogobera ddala.
Buli ssomero abadde yaliteekamu dayirekita gwe bayita ‘Resident Director’ ataviirawo ddala nga y’avunaanyizibwa okulondoola emirimu gyonna egikolebwa naye nga talinaamu bwannannyini.
Buli ekikolebwa yabakuutidde bamalenga kusooka kutuula bakikkaanyeeko beewale enkola y’okusika omuguwa kuba naye bw’abadde akola.
Abooluganda lw’omugenzi abaasangiddwa n’obuvunaanyizibwa mu bizinensi bagenda kubusigaza kuba bwabaweebwa okusinziira ku busobozi bwabwe.
Yalonda abanaamuziika era ekiraamo kirimu kalonda mungi akwata ne ku ngeri gy’aliziikibwamu era n’abakulembeddemu okusaalira omugenzi n’abasse mu ntaana bonna abadde yabassa mu kiraamo.
Nnamwandu Nnaalongo Madinah Ssewava Nga Bamuwaniridde Mu Kuziika Bba E Buloba.
Minisita w’ebyenjigiriza ebyawaggulu, JC Muyingo, yagambye nti, Ssewava yakimugamba nti ne bw’aliba avudde mu nsi amasomero ge tegaawulwanga. Kino yagambye nti bagenda kukirondoola nga minisitule kituukirire.
Bannamwandu basatu be baalagiddwa mu kuziika okuli; Hajat Sarah Nabuuma ow’e Muyenga, Hajat Beghan Ssewava ne Nnaalongo Madinah Ssewava.
Abaana abalagiddwa baabadde 14 ng’omukulu ye Faruk Ssewava era ye yayogedde ku lwa baganda be. Abasinga baabadde bato nnyo nga tebaweza myaka 15.
LWAKI SSEWAVA ENSI EMUTEGEDDE AMAZE KUFA
Abantu bangi babadde tebamanyi nannyini masomero ga Sir Apollo Kaggwa era yamaze kufa ne balyoka bategeera nnyini go. Ebigambo bino byanywezeddwa okubuulira kwa Sheikh Hafiz Walusimbi akulira Shalia mu ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli mu kuziika e Buloba eyagambye nti Ssewava ensi egenda kumutegeera oluvannyuma lw’okuvaawo.
Obulamu bwa Ssewava tabadde wa kweraga wadde ng’abadde mugagga nnyo. Okugeza y’omu ku babadde ba Dayirekita mu ttiimu y’omupiira eya Express FC kyokka nga tavaayo nnyo era olumu baali baagala okumuwa obwassentebe bwa kkiraabu eno n’agaana.
Obudde bungi abadde abumalira ku mirimu gye. Buli lunaku abadde atuuka ku mulimu ku ssaawa 11:00 ez’oku maliiri era nga gy’asaalira esswala ya Subuhi ey’oku makya 12:00 ate n’annyuka ku 6:00 ez’omu ttumbi.
Abadde teyeenyigira mu mivuyo era nga ne mu kitundu mw’alina ebyobugagga towulirawo nti agobaganya abantu nga bwe kitera okuwulirwa ku bagagga abawera.
Abadde mwetoowaze nnyo nga ne bwe bamuyita ku mukolo ng’omugenyi omukulu bw’atuuka asooka kutuula mu bantu okutuusa lwe bamuggyayo.
Gye nvudde wa Ssewava ow’okuyita mu bugubi abadde amuyamba okwekakkanya. Okugeza emisomo yali agikomezza mu P7, okutuusa lwe yafuna omuzirakisa (Mw.Lule) eyamutwala ku PTC e Kibuli n’asoma obusomesa bwa Grade II. Eno gye yava okugenda ku haaya oluvannyuma.
Ssewava tabadde mucakaze nti onaamusanga mu biduula, ng’awa nnyo abantu obuvunaanyizibwa ne bakola w’atali. Kimuleetedde okuba nga ne waasuubirwa okubeera nga talinnyayo.