OWAPOLIISI eyeekebejja ebizibiti ebigambibwa okuggyibwa mu maka ga Sipapa ku misango gy’okubbisa eryanyi egimuvunaanibwa, alaze biki bye yazuula.
Emisango egy’okubbisa eryanyi 13, Sipapa ng’amannya ge amatuufu ye Charles Olimu agiriko ne muganzi we, Shamira Nakiyemba nga bavunaanibwa mu maaso g’omulamuzi Micheal Elubu owa kkooti ewozesa abali b’enguzi n’abalyake e Wandegeya. Enock Kanene nga mbega wa poliisi okuva mu kitongole kya Poliisi ekyekebejja ebiziti ng’asoyozebwa ebibuuzo okuva ew’omuwaabi wa gavumenti Edward Muhumuza yategeezezza kkooti nti ebizibiti bino mwalimu essimu ez’ekika kya I-phone 3 ne kompyuta z’ekika kya laptop eza MacBook 3.
Yalaze nti ebimu ku bifaananyi ebyakubwa ebiri ku zimu ku ssimu ezo byali bya nnannyini ssimu ezo Deng Nul, munnansi ya South Sudan.
Yagasseeko nti, mu kunoonyereza kwe era yakizuula nga nnannyini ssimu ezo yaliko e Kampala ne Juba mu South Sudan era yali egyeyambisizaako ku Kompyuta eri mu mannya ga Deng Nul.
Kigambibwa nti abawawaabirwa emisango baagizza nga August 29,2022 e Buziga- Makindye mu maka ga Jacob Arok Mayendit munnansi wa South Sudan. Kigambibwa ebimu ku bintu ebyo byazuulibwa mu maka ga Sipapa e Buwaate – Najeera