Ebintu 7 ebivaako okuziba amaaso

AMAASO ky’ekimu ku bitundu by’omubiri eby’omugaso wabula abasinga bagafaako nga gamaze kufuna buzibu. Dr. Samuel Isiko, omukugu mu ndwadde z’amaaso nga yawummula okuva mu ddwaaliro ly’e Mengo, agamba nti, okufaananako n’endwadde endala ezitangirwa, amaaso nago galina okutangirwa okulwala mu kifo ky’okugalinda

Omusawo ng’akebera omutuuze w’e Gwembuzi omu ku bajja mu lusiisira lw’ebyobulamu olwakolebwa aba lotale ya Muyenga Tankhill, mu kutema evvuunike ly’okuzimba eddwaaliro e Gwembuzi mu disitulikiti y’e L
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AMAASO ky’ekimu ku bitundu by’omubiri eby’omugaso wabula abasinga bagafaako nga gamaze kufuna buzibu. Dr. Samuel Isiko, omukugu mu ndwadde z’amaaso nga yawummula okuva mu ddwaaliro ly’e Mengo, agamba nti, okufaananako n’endwadde endala ezitangirwa, amaaso nago galina okutangirwa okulwala mu kifo ky’okugalinda
okulwala olwo n’ogenda mu basawo. Annyonnyola ebisaanye okukolebwa:
 Wadde waliwo embeera eteewalika naddala ey’obukadde, kuba buli muntu bw’akula n’amaaso nago ganafuwa wabula kino kisinziira ku nneeyisaayo bwe wali okyali muvubuka.
 Waliwo obubenje obw’ebika   eby’enjawulo bw’osobola okugwako ne buvaako amaaso okufuna obuzibu obw’enjawulo, wabula nga buno buba bwetaaga abakugu okukujjanjaba n’okukulambika ku ky’okukola obutakosebwa kisusse.  Waliwo obuzibu bw’amaaso nga bwa buzaale nga y’emu ku nsonga lwaki oyinza okusanga
ffamire nga yonna omuli abaana  n’abazzukulu nga bambala gaalubindi  ez’okusoma oba okulaba.
 Endwadde omuli; entunnunsi (puleesa), ssukaali n’endala ezivaako amaaso okufuna obuzibu naddala singa ziba tezifunye bujjanjabi okuva mu basawo abakugu.
Endwadde omuli omusujja gw’omu byenda gukosa amaaso bweguba tegujjanjabiddwa mu bwangu ate mu butuufu.
EBITTA AMAASO NGA BITANGIRWA
Dr. Isiko agamba nti, waliwo embeera ezimu ezisobola okuvaako  endwadde y’amaaso wabula nga zisobola okwewalika oba okutangirwa.
 Muno muzingiramu okubeera ku masimu oba ku kompyuta okutali kiwaawo kitangira
maaso ku kitangaala ekyo okumala ekiseera ekiwanvu. “Kino kye kikyasinze okuvaako obuzibu kuba omulembe gwe tulimu gwa tekinologiya wa bya mpuliziganya nga byonna bitambulira ku kompyuta na masimu”, Dr. Isiko bw’akkaatiriza.

 Emirimu omuli egy’abantu abookya ebyuma (wolodingi) nga tebambala gaalubindi zitangira kitangala kya muliro okutuuka obutereevu mu maaso.
 Okufuuweeta sigala n’ebiragalalagal  ebirala nabyo bikosa amaaso. Dr. Evans Tusuubira, akulira ekitongole kya Organisation for Health Promotions mu Kampala,
agamba nti, endwadde z’amaaso ezimu zigenda zikula bukuzi ng’endwadde endala, wabula singa ziba zijjanjabiddwa mu bwangun gasobola okuwona