Ab’e Rakai bakaaba enguudo embiAb’e embi

RAKAI y'emu ku disitulikiti mu bbendobendo ly'e Masaka ezisinze okusanga okusoomoozebwa olw'embeera y'enguudo embi.

Abatuuze e Rakai nga bagezaako okuggya emmotoka etubidde mu kaseerezi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

RAKAI y'emu ku disitulikiti mu bbendobendo ly'e Masaka ezisinze okusanga okusoomoozebwa olw'embeera y'enguudo embi.
Disitulikiti eno erina kiromita 25 zokka eza kkoolaasi nga ziri ku luguudo oluva e Kyotera okutuuka ku kitebe kya disitulikiti. Enguudo embi zikalubizza entambula y’abantu n’ebyamaguzi.
Abatuuze abamu bagamba nti, embeera y'enguudo embi ezibuwazizza okutambuza ebirime okubituusa mu butale ne bafiirwa ssente nnyingi ate nga bangi ku bo bayimiriddewo ku bulimi.
N'abavuzi b'ebidduka mu kitundu kino nabo bakaaba olw’okusoomoozebwa kwe basanga olw’enguudo embi nga kino kipaaludde n’ebbeeyi y’entambula kuba ebidduka omuli mmotoka ne pikipiki bannyini byo babisiibya mu galagi ne basaasaanya ssente nnyingi.
Maj. Gordan Kakeeto, sipiika w'eggombolola y'e Lwanda agamba nti, n'abaweebwa emirimu okukola enguudo basaana beekenneenyezebwe kuba bangi ku bo bakola gadibeng'alye ne kivaako enguudo okwonooneka mu bbanga ttono.
Kkansala w’eggombolola y’e Ddwaniro ku disitulikiti, Isaac Kukiriza agamba nti, ke kaseera Gavumenti okwongera ku ssente z'ebawa okukola enguudo ate etuukirize ebisuubizo by’ezze ekola mu kitundu kino.
Hamza Ssenyondo, agamba nti, abakulembeze baabwe balina okutuusa eddoboozi ly'abantu eri be kikwatako kisobozese enkulaakulana okutuuka mu kitundu kyabwe.
Kkansala w’eggombolola y’e Lwentulege ku disitulikiti, Christopher Lujjumba ate ng’atuula ku kakiiko k’ebyenguudo agamba nti, Rakai yeetooloddwa ensozi n’amazzi ekivaako enguudo zaabwe okufa mu kaseera katono.
Ssentebe wa Lwentulege Town Council, Wilson Kamuli, agamba nti, obuzibu bwonna buva ku nsimbi entono ze bakung’aanya mu misolo kuba tezibasobozesa kukola nguudo zonna. Yasabye bongezebwe nga baviira ddala ku disitulikiti kibayambe okukola enguudo eziwera.
Ssentebe wa disitulikiti, Umar Ssebalinde agamba nti, basanga okusoomoozeebwa olw'obutaba na nguudo za kkoolaasi ekikalubya entambula n’asaba bongezebwe ku nsimbi