TAATA eyasiba omwana we ku muti n’amuteekera omuliro mu bugenderevu, kkooti emukalize emyaka 12.
David Ssenabulya, 36, omutuuze ku kyalo Bunoga mu ggombolola y’e Kyamuliibwa mu Kalungu, yasindikiddwa mu nkomyo amaleyo emyaka 12 oluvannyuma lw'okusingisibwa emisango gy'okutulugunya omwana gwe yeezaalira.
Kigambibwa nti, Ssenabulya yakwata muwala we Faith Namwanje,14, n’amusiba ku muti n’omuguwa n’akung’aanya kasasiro n'ebicupa n’ayiwako amafuta n’amukumako omuliro nga amulanga kubba 5,000/-.
Ssenabulya, emisango gino yagizza nga April 25, omwaka guno era okuva olwo n’addukira e Kyannamukaaka ne yeekukuma. Eno ab’obuyinza gye baamukukunula n’avunaanibwa.
Namwanje yalumirizza kitaawe nti, yali ayagala kumusobyako wabula bwe yagaana kwe kusalawo okumwokya. Nga Ssenabulya agasimbaganye n’omulamuzi wa kkooti ento e Masaka, Simon Toloko, yasoose kukkiriza musango ate oluvannyuma n’agwegaana, ekyatabudde abaabadde mu kkooti.
Omulamuzi bwe yazzeemu okumubuuza oba omusango yaguzza, n’akkiriza kyokka n’asaba kkooti emubeerere ya kisa emuwe ekibonerezo ekisaanidde nti, kuba alina omukyala n'abaana abato abeetaaga okulabirira.
Omuwaabi wa Gavumenti, Mariam Njuki yategeezezza kkooti nga Ssenabulya ekikolwa kye yakola bwe kitali kya buntu, ekiyinza okuviirako Namwanje okufuna obulemu obw’olubeerera, n’asaba omulamuzi amukalige emyaka 35 abeere ekyokulabirako eri abalala.
Mu nsala ye, omulamuzi Toloko yagambye nti, Ssenabulya ekikolwa kye yakola si kya buzadde era yeetaaga okuggyibwa mu baana be abasigadde basobole okukula obulungi, bw’atyo n’amusindika mu kkomera amaleyo emyaka 12.