Omugagga wa Tropical Inn e Masaka bamukungubagidde

ABANTU ab’enjawulo bakungubagidde omugagga nnannyini wooteeri ya Tropic Inn e Masaka, Dr. George William Ssamula eyafudde.

DR omugenzi Dr. Ssamula.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU ab’enjawulo bakungubagidde omugagga nnannyini wooteeri ya Tropic Inn e Masaka, Dr. George William Ssamula eyafudde.
Dr. Ssamula yayatiikirira nnyo ng’omusawo w’amannyo ow’amaanyi mu Kampala ng’eddwaaliro lye lyali ku kizimbe kya Uganda House ku Kampala Road. Yalina n’eddwaaliro e Masaka
Wooteeri ya Dr. Ssamula y’emu ku z’omulembe ezaasooka okuzimbibwa e Masaka. Ekifo kya Tropical Inn kyayonoonebwa nnyo mu lutalo lwa 1979 bwe kyakubibwa ssabbaawa ne kitikkukako obusolya, wabula mu 1999 n’agizzaawo ng’asaasaanyizza buwumbi.
Maneja wa Tropic Inn, Denis Majwala yategeezezza nti omugenzi abadde muwagizi wa kibiina kya Democratic Party (DP)
Ng’omuwagizi wa DP, Majwala yategeezezza nti omugenzi yakkiriza ekibiina okutuuzanga enkiiko zaakyo ku wooteeri eno.

Omulyango oguyingira ku wooteeri ya Tropical Inn e Masaka.

Omulyango oguyingira ku wooteeri ya Tropical Inn e Masaka.


Eyaliko Ssentebe wa Disitulikiti y’e Masaka, Joseph Kalungi yategeezezza nti omugenzi abadde afaayo nnyo okutumbula ebyenjigiriza. Okuva mu biseera ng’akyasoma ku ssomero lya St Henry’s e Kitovu yayambanga bayizi banne naddala mu masomo ga ssaayansi okulaba nga bagayita.
Kalungi yagambye nti ne bwe yamaliriza okusoma era abadde wa mugaso nga teyeerabira ssomero lye eryamubangula kuno kwoteeka n’okukwasizaako Bannamasaka ng’abayunga ku bifo eby’enjawulo naddala ku mirimu.
Omu ku b’oluganda lwa Dr. Ssamula , Bernard Kasozi alaze ng’omugenzi bwabadde afuba okulaba nga buli muntu afuna ebeera eyeeyagaza. Wooteeri ye ekozesa abantu abasukka mu 100 nga abamu baawandiikibwa nga tebalina buyigirize wabula n’abazzaayo ne basoma.
Dr. Samula yazaalibwa Nninzi mu kabuga k‘e Kaliisizo e Kyotera era gy’agenda okuziikibwa. Aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa sukaali ne puleesa kuno kwoteeka okulumwa amagulu.
Yamanyika nnyo ng’omusuubuzi, omulimi era ng’omusawo ng’akkiririza mu ddiini y’Obukatoliki