ABAKOZI mu butale, aba boda n’abantu abayingiza ssente entono babanguddwa ku ngeri gye basobola okuterekamu ssente eziribayamba mu bukadde.
Enteekateeka y’okubangula bamufunampola bano yawomeddwaamu omutwe ab’ekibiina kya Namasuba Market SACCO & Cooperative Limited, Uganda Markets Union ne URBRA okusitula embeera z’abantu abafuna ssente entono.
Robert Jjuuko, Ssentebe w’ekibiina ky’obwegassi mu katale e Namasuba yagambye nti, baleese enteekateeka gye baatuumye Informal Workers Social Protection Scheme abantu abayingiza ssente entono mwe basobola okuyita okutereka ssente ezisobola okubayamba mu bukadde n’asaba Gavumenti ebakwatireko basobole okutuuka ku buli muntu mu ggwanga.
Lydia Mirembe, okuva mu URBRA yategeezezza nti, buli muntu yandibadde atereka ssente zimuyambe mu dda n’awa abantu amagezi bwe baba baterese balondoole ssente zaabwe bamanye akawunti bwe ziyimiridde