Amawulire

Owa S3 eyabuze awaka bamutuze

POLIISI ekutte omuvubuka ku by’okufa kw’omuyizi wa S3 abadde amaze ennaku 3 ng’anoonyezebwa bazadde be. Faith Namata 16, abadde asoma S3 ku Kitebi SS, yabula ku Lwokusatu okuva mu ewa jjajjaawe Regina Nabaggala gw’abadde abeera naye e Wankulukuku mu divizoni y’e Lubaga okutuusa Olwomukaaga lwe baazudde omulambo gw’e mu ggwanika e Mulago nga yatemulwa.

Faith Namata, eyattiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI ekutte omuvubuka ku by’okufa kw’omuyizi wa S3 abadde amaze ennaku 3 ng’anoonyezebwa bazadde be. Faith Namata 16, abadde asoma S3 ku Kitebi SS, yabula ku Lwokusatu okuva mu ewa jjajjaawe Regina Nabaggala gw’abadde abeera naye e Wankulukuku mu divizoni y’e Lubaga okutuusa Olwomukaaga lwe baazudde omulambo gw’e mu ggwanika e Mulago nga yatemulwa.
Ku Lwokuna nga October 9, abatuuze b’e Bunnamwaya Kikumbi baagudde ku mulambo gw’omuwala gwe batamanyi ku kitundu ng’attiddwa omulambo ne gusuulwa mu kasiko ku kkubo, poliisi y’e Katwe ye yaggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika e Mulago.
Akulira essomero lya Kitebi SS Muhammed Kamulegeya yategeezezza nti, Namata abadde muyizi waabwe, naye baasemba okumulaba ku ssomero ku Mmande ya wiiki ewedde era bazzeemu kuwulira mawulire ga kufa kwe, n’asaasira aba ffamire olw’ekikangabwa kino.
BAKUTTE OMULENZI
Poliisi yakutte omuvubuka eyategeerekese nga Jeremiah Kakande,20, nga kigambibwa nti, aliko mukwano gw’omugenzi gwe yakubidde essimu ng’amubuuza ebigenda mu maaso. Gwe yakubidde ye yatemezza ku booluganda ne bakolagana ne poliisi ne baddamu okumukubira ng’amuyita ajje e Nyanama amubuulire ebiriwo.
Awo poliisi n’emuvumbagira n’atwalibwa ku poliisi y’e Katwe gy’akuumirwa kati. Omu ku mikwano gy’omugenzi ataayagadde kwatuukiriza mannya yategeezezza nga bwe baali ku ka saluuni, Elijah n’ajja awali Namata ne boogeraganya, n’amuggyako essimu ndowooza ng’ayagala amugoberere bagende bonna era omuwala kye yakola, teyaddamu kulabika okutuusa lwe baazudde omulambo.
ENGERI OMUYIZI GYE YABULA AWAKA
Maama w’omugenzi omuto, Pauline Nakacwa agamba nti, yasemba okulaba muwala we Namata ku Lwokusatu ku ssaawa 11 ez’akawungeezi. Nakacwa yabuulidde Bukedde nti, bwe zaawera ssaawa ssatu ez’ekiro nga Namata takomawo waka baafunamu okutya kuba yali tatera kuziweza nga tannadda, kyokka baalowooza nti, yandiba ali wa nnyina Doreen Kasozi e Namasuba.
Nga bukedde ku Lwokunabaakuba ku ssimu ya Namata ng’eyitamu naye nga tekwatibwa oluvannyuma n’evaako, olwo ne mikwano gye ne batandika okumunoonya ku mitimbagano nga yonna taliiyo ne batandika omuyiggo.
Ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’okuwulira amawulire g’omuwala eyali attiddwa e Kyengera, baasalawo okugenda e Mulago okumunoonyezaako mu bafu. Baabalaga omulambo ogwaggyiddwa e Kyengera nga si ye yye, wabula akuuma eggwanika n’abasaba balabeko ne ku mirambo emirala omwali ogwaggyibwa e Bunnamwaya ku Meefuga, bagenda okugutuukako nga ye muwala waabwe.
Maama w’omugenzi Doreen Nabawanuka Kasozi yategeezezza nti, yasemba okulaba muwala we Namata ng’agenze okumulabako obulwadde ku ntandikwa ya wiiki ewedde, n’amusiibula ng’amusuubizza okudda amangu amulabeko, wabula wayiseewo ennaku mbale ne bamutegeeza nti, Namata yabuze ate oluvannyuma nti, yattiddwa.
Abatuuze baasabye abazadde okwongera amaanyi mu kulambika abaana kubanga ensi kati etabuse, abavubuka bakozesa ebitamiiza bingi ebibaleetera okukola ebikolobero nga bino ne basaba okunoonyereza kutandikirewo. Omugenzi wa kuziikibwa e Mityana leero ku Mmande.

Tags: