Amawulire

Banna Iganga ne Kamuli basabiddwa okuyiira Museveni akalulu baganyulwe mu manifesto ye

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala, Anita Among akyagenda mu maaso n’okuwenjeza mukama we pulezidenti Museveni akalulu mu bitundu by’e Busoga.

Banna Iganga ne Kamuli basabiddwa okuyiira Museveni akalulu baganyulwe mu manifesto ye
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AMYUKA ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala, Anita Among akyagenda mu maaso n’okuwenjeza mukama we pulezidenti Museveni akalulu mu bitundu by’e Busoga.

Leero ku Ssande amakanda agasimbye Nawanyingi mu disitulikiti y’e Iganga gy’asuubizza abeeno ebyuma ebigenda okubayambako okufukirira ebirime byabwe.

Abawagizi ba Museveni Nga bakung'anye e Iganga

Abawagizi ba Museveni Nga bakung'anye e Iganga

Mu kaweefube gw’aliko okulaba nga Museveni awangulira waggulu akalulu akajja mu bitundu by’e Busoga, Among ne leero akunze ab’e Kamuli okuyiira Museveni akalulu basobole okuganyulwa mw’ebyo byasimbyeko essira mu manifesto ya NRM.

Bano abasuubiza ebyuma eby’oku bayambako mu kufuuyirira ebirime,  ensimbi za PDM okukubisibwamu emirundi 3 kw’ossa eddwaliro lya Referral mu Busoga..

Among ne Kabanda Nga batuuka mu Iganga.

Among ne Kabanda Nga batuuka mu Iganga.

Ye ssaabawandiisi wa PLU, nga naye ali ku kaweefube w’okulaba nga Museveni awangulira waggulu  akalulu, asabye abeeno obutakoma ku kulonda babaka ba NRM ate ku kya pulezidenti ne baleeta omuntu omulala ate atasobola kukolera wamu n’ababaka baabwe okulaba nga bafuna obuweereza bwe bayaayaanira.

Abamu ku bakulembeze ba LC1 basabye gavumenti okubongeza ku musaala nga n’abakyala bategeezezza nga ensimbi ezibaweebwa okweggya mu bwavu bwe zikoma ku ba disitulikiti bokka.

Tags:
Iganga
Kalulu
Museveni
Kuganyulwa
Muzeeyi
Kamuli