OMWANA ow’emyaka etaano afiiridde mu muliro ogwakutte enju n’afa ng’alaajanira nnyina okumutaasa, ekitaasobose.
Entiisa eno yabadde mu UEB zzooni mu muluka gwa mulago II omuliro ogugambibwa okuba nti gwavudde ku masannyalaze bwe gwakutte emu ku nju okukkakkana nga Britney Kainza 5,alusuddemu akaba!
Ono abadde wa muyizi ku ROSA Kindergarten erisangibwa e Mulago ng’abadduukirize baakoze ekisoboka okutaasa omwana eyabadde mu kinaabiro ky’omu nju ng’anaaba mu kiseera omuliro gwe kwatidde.
Eddie Kiggundu omu ku baazikizza omuliro yagambye nti baasoose kulaba masannyalaze nga gabwatukira ku muti oluvannyuma baalabye omukka nga guva mu muzigo ogumu.
Yategeezezza nti abantu badduse okugenda okulaba ogubadde kyokka baasanze enju ekutte omuliro baakutudde payipo ezitambuza amazzi ne batandika okuguzikiza naye omwana tebaasobodde kumutaasa kuba yabadde mu kiyigo ng’ate omuliro gwabadde gumaze okusaasanira enju .
Yagasseeko nti omuliro gwakutte ku ssaawa 1:30 ey’akawungeezi nga mmotoka y’omuliro yatuuse mu bwangu n’eziyiza omuliro okusaasaanira emizigo emirala n’amayumba agaliraanyeewo.
Zaina Mutuwa maama w’omugenzi yagambye nti mu kiseera omuliro we gwakwatidde yabaddewo awaka ng’atudde wabweru kyokka teyasobodde kutaasa mwana we.
Stephen Munyosi taata w’omugenzi yagambye nti kati basigazza abaana 2, kyokka baamukubidde essimu ng’ali wala yagenze okutuuka ng’omwana we afudde ng’ebintu byonna talina kyatasiddwamu.
Omugenzi waakuziibwa ku kyalo Rwalera mu ggombolola y’e Bungoko mu muluka gw’e Bubirabi mu disitulikiti y’e Mbale .