YINGINIYA wa kkampuni y’amafuta eya Uganda National Oil Company (UNOC) abadde agenze okwewummuzzaamu ku biyiriro by’e Busowoko ku mugga Kiyira, aseeredde nga yeekubya ebifaananyi, ennyanja n’emumira.
Yinginiya Gershom Rwakasanga, kigambibwa nti, yagenze ne muwala we okwewummuzzaamu ku Lwomukaaga, ku biyiriro bino gy’abadde atera okugenda, kyokka ku ssaawa nga 10 ez’akawungeezi baawulidde muwala we ng’atema omulanga, bagenda okutuuka nga Rwakasanga amazzi gaamututte dda. Eggulo poliisi ng’eri wamu n’abatuuze baazudde omulambo gwa Rwakasanga mu mugga Kiyira, e Jinja. Ebiyiriro bya Busowoko bisangibwa ku mugga Kiyira e Jinja mu Bwakyabazinga bwa Busoga.
Kkampuni ya UNOC mu kiwandiiko kye yafulumizza, yagambye nti, Rwakasanga abadde musajja mukozi nnyo era nga bamwenyumirizaamu. Baasasidde aba ffamire, mikwano gye, n’abakozi ba UNOC, olw’okuviibwako omuntu ow’omugaso.
Omuyambi wa RDC w’e Jinja, Samuel Kauta yagambye nti, omugenzi Rwakasanga abadde yettanira okugenda ku biyiriro bino, wabula ku mulundi guno yagaanye okuweebwa omuntu amulung’amya okwetooloola ebiyiriro bino nga bwe kirina okuba. Era yagenze yekka ne muwala we, kyokka waayise akaseera katono nnyo, abantu ne bawulira omwana ng’akaaba ne bajja okumudduukirira we baakitegeeredde nti, kitaawe amazzi gamututte.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kiira James Mubi yagambye nti okunoonyereza ku kabenje kano kukyagenda maaso.