EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kiyungudde abakuumi ne bambega 1,500 okukuuma ebigezo bya S4 ebitandise leero mu Uganda yonna.
Omwogezi wa UNEB, Jenifer Kalule Musamba yalabudde abeetegese okubba ebigezo nti, tebakigezaako kuba amaaso ga UNEB gali buli wamu era anaakwatibwa wa kuvunaanibwa ng’amatteeka bwe galagira.
Abayizi 432,159 be beewandiisa okutuula ebigezo bino nga basinze ku b’omwaka oguwedde abaali 379,748. Ebigezo bagenda kubituulira mu bifo 4,308 okwetooloola eggwanga. Musamba yagambye nti, basikawutu be bayungudde, baakufuba okulaba nga tewabaawo mbeera ya kubba bigezo mu masomero gye babasindise. Poliisi nayo egenda kuba ekola ogwayo ogw’okukuuma obutebenkevu, okulaba ng’ebigezo bitambula bulungi.
Olwaleero abayizi batandise n’ekigezo ky’essomo lya Geography, ate akawungeezi bagenda kukola ekigezo kya Biology. Akulira ekitongole kya UNEB, Dan Odongo yasabye abasomesa abali mu kwekalakaasa, okusooka okuyimirizaamu mu k’eddiimo kaabwe, bayambeko UNEB mu kuddukanya ebigezo bino, kubanga ebeesigamako nnyo mu kulaba ng’ebigezo bitambula bulungi.
Odongo yalabudde Bannayuganda okwegendereza abafere abagamba nti, balina ebigezo abayizi bye bagenda okukola nti, era babitunda, kubanga ssente zaabwe bagenda kuzibbira bwereere era abamu baakwatiddwa dda.
Yannyonnyodde nti, etteeka eritondawo UNEB erya UNEB Act, 2021 akawaayiro aka 25 (1) kagamba nti, omuntu yenna akwatibwa n’ebintu ebyekuusa okubba ebigezo, abeera azzizza omusango era bwe gumusinga asibwa emyaka 10 oba okutanzibwa obukadde 40 oba byombi.