OMWANA abadde atonyezza ekipiira okugoba emisoto ateekedde enju omuliro ebintu byonna n'ebisaanawo .
Omuliro guno gwakutte amaka ga Juliet Nakandi omutuuze w,omu Luteeye A mu town kkanso ye kasangati ne gusanyawo ebintu byonna nga mmotoka za poliisi zaagenze okutuuka ng'ebo
Nakandi yagambye nti emisoto gibadde nga gibayingirira kwe kusalawo okunyokeza ekipiira giveemu ebyembi mu galagi mwabaddemu engoye ng'omwana kwe yatonyezza omuliro mu butanwa ng'ebintu byonna byaweddewo nga ne nju yakuddamu buto okuzimba we yasabidde abazira kisa okumuddukirira ku 0782492322 /0754267658