ENSONGA ezisinga okugulumbya abantu emitwe mu bulamu zeetooloolera ku mukwano; bangi beebuuza lwaki obufumbo bw’ennaku zino tebukyawangaala, abasajja lwaki bafuuse ganyegenya, ebyenfuna ebisoomooza amaka n’ebizibu by’okwegatta mu bafumbo.
Bino byonna omwoleso gaggadde ogw’emikolo n’embaga ogwa Bride and Groom ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group guzze okubiddamu.
Abakugu mu nsonga z’omukwano n’amaka; kojja Kevin Muwoomya, ne Ssenga Hamidah
Namatovu bagenda kubaayo okugaba obukodyo bw’omwaka 2025 obugenda okukuyamba
okukuuma omukwano nga gutinta n’okugumya amaka gammwe. Ababadde beebuuza engeri y’okukwatamu abaagalwa baabwe ne babasumulula ppata, okutyakuweddewo anti ku Lwomukaaga Ssenga Hamidah agenda kubasoosootolera obukodyo. Agenda
n’okulambulula ku bulabe bw’okutambuliza omukwano n’obufumbo ku ddogo akulage
omukyala bw’okwatamu omusajja nga togenze mu ssabo.
Muwoomya waakula engeri gy’okwatamu omwagalwa wo mu kisenge ne munyumirwa.
Omwoleso gugenda kumala ennaku ssatu, okutandika enkya ku Lwokutaano nga June 27 okutuusa ku Ssande (June 29) e Lugogo mu UMA Multipurpose Hall ng’okuyingira kwa 10,000/- buli muntu era emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa 2:00 ez’oku makya buli lunaku.
Omwoleso guno gwa mulundi gwa 16 nga gutambulidde ku mulamwa nti, ‘Beyond I do, building a life time together’ nga guvujjiriddwa Crown Beverages, The Looks
Bespoke ne Bella Wine Akulira enkolagana ya bakasitoma n’ekitongole kya NIRA,
Faridah Nassozi, akakasizza ng’ekitongole kino bwe kigenda okwetaba mu mwoleso
guno era baakutuusa ku bantu empeereza za NIRA zonna ku bwereere. Yannyonnyodde nti bagenda kuwandiisa abantu abaagala okufuna densite, okuzza obuggya, n’abaagala
satifikeeti z’obuzaale n’ebirala.
Bo aboolesi bakyagenda mu maaso n’okwekwata emidaala okugwetabamu.
Akulira okutegeka ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group, Phiona Tamale agamba nti
abagenda okujja tebagenda kukoma ku kya kulambula na kugula bintu birungi ku layisi
wabula n’okuwangula ebirabo ntoko okuli; wayini, essuuti z’embaga, ssaako olugendo lw’okuwummulamu ku ‘honeymoon’ n’omwagalwa wo.