ABATUUZE ku byalo 33 mu disitulikiti y'e Kassanda ababadde basulirira okusengulwa ku ttaka bajaganya oluvannyuma lwa minisita w’ebyettaka Sam Mayanja okugendayo n’alagira ebyapa 4 ebyali byakolebwa ku ttaka ly'ekibira kya Kyabego bisazibwemu.
Ettaka lya Kyabego Forest Reserve liwerako sikweya mayiro 28 (yiika 17,920) nga liri ku byalo 33 mu miruka 8 mu ggombolola y’e Mannyogaseka mu Kassanda. Ettaka lino liriko obutawuni obw’enjawulo, amasomero n’amalwaliro ga Gavumenti ne ffaamu z’abantu ssekinnoomu.
Mayanja okugendayo kyaddiridde abatuuze nga bakulembeddwaamu Ssentebe wa ggombolola y’e Mannyogaseka, Frank Kamugisha okuwandiikira Pulezidenti Museveni nga bamusaba okuyingira mu nsonga eno nga bagamba nti, basula ku tebuukye olw’okutiisibwa okusengulwa, wadde nga baali tebakakasa bwannannyini ku ttaka lino oba okukakasa nti, lya bibira.
Pulezidenti Museveni yatumye minisita Mayanja alabe engeri gy’ayamba abantu bano.
Mayanja bwe yatuuseeyo ku Lwokuna nga June 26 n’omuyambi wa Pulezidenti Phiona Barungi yakubye olukiiko ku ssomero lya St. Maria Goretti ku kyalo Mannyogaseka, Ssentebe Kamugisha mwe yasinzidde okumuloopera nti, ebyapa 4 ng’ebimu biri mu mannya ga Paasita ow’amaanyi mu Kampala (amannya gasirikiddwa, n’ebirala mu mannya ga kkampuni ssatu).
Mayanja yagambye nti, awuliriza bulungi ensonga era asomye n’ebiwandiiko byonna ku ttaka eryo era asazeewo tewali mutuuze agenda kugobwa ku kibanja kye.
“Ebyapa byonna ebigambibwa okuba ku ttaka lino, bisazibwemu era abatuuze mwenna mutuule ntende. Mmwe bennyini mugende musabe libaweebwe,” bwe yagambye.
Okumala ebbanga, wabaddewo enkaayana ku ttaka lino ng’ebiwandiiko ebimu bibadde biraga nti, waliwo ekibira kya Gavumenti ekiyitibwa Kyabego Forest Reserve ate ebirala nga biraga nti, tewali.
Ekitongole ky’ebibira ekya National Forest Authority (NFA) olumu kyawandiika ebbaluwa eraga nti, waliwo ekibira kyokka ebiwandiiko ebirala nga biraga nti, tekiriiwo. Mayanja yagambye nti, okumma abatuuze ekyapa ne bakiwa omuntu atali mutuuze, kyali kikyamu kuba abatuuze bandisoose okuweebwa omukisa.
“Ab’akakaiiko ka disitulikiti bano nabo ng’enda kubawandiikira kuba kino kye bakola tekikkirizibwa,” bwe yasuubizza. Mayanja yagambye nti, ekitongole kya NFA okukakasa nti, waliwo ekibira ate nga tekiriiwo nayo nsobi ng’abakungu abaali mu nsonga eno balina okuvunaanibwa.
“Ng’enda kutegeeza Pulezidenti ebyakolebwa aba NFA era balina okuvunaanibwa,” bwe yagambye. Mayanja yasoose kulambuzibwa bifo eby’enjawulo n’alaba ebiriyo nga abakulembeze bwe bamukakasa nti, wano tewabeerangawo kibira kya Gavumenti kuba we bakulidde.